TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yambala mu ngeri eggyayo omulamwa gw’olunaku

Yambala mu ngeri eggyayo omulamwa gw’olunaku

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2020

VALENTAYINI lusigazza ennaku mbale okutuuka. Abaagalana bategese engeri ez’enjawulo gye bagenda okulukuzaamu, okugeza abamu bagenda kutwala bannaabwe ku bubaga, abalala bayiiya ngeri ya kwambalamu nga batwalira abaagalwa baabwe ebimuli by’omukwano n’abalala balina enteekateeka z’okugenda ku byeggulo ne bannaabwe n’abamu bagenda kukyalira bazadde baabwe.

Fashion1 703x422

Langi enzirugavu teboola.

VALENTAYINI lusigazza ennaku mbale okutuuka. Abaagalana bategese engeri ez’enjawulo gye bagenda okulukuzaamu, okugeza abamu bagenda kutwala bannaabwe ku bubaga, abalala bayiiya ngeri ya kwambalamu nga batwalira abaagalwa baabwe ebimuli by’omukwano n’abalala balina enteekateeka z’okugenda ku byeggulo ne bannaabwe n’abamu bagenda kukyalira bazadde baabwe.

Bangi baafunye dda okutya ku ngeri gye bagenda okwambalamu banyumire olunaku. Mu mbeera eno, ebisinga okuwa abantu obuzibu kwe kulonda ekika ne langi y’olugoye kubanga abasinga bakirina mu mutwe nti ku Valentayini bateekwa kwambala bimyufu.

Grace Nakanwagi omukugu mu misono gy’abakyala owa C $ G fashion Collections e Makindye agamba nti ng’oggyeeko abambazi okweraliikirira okusalawo ku langi, bangi bakyebuuza emisono gye banaayambala egiggyayo obulungi omulamwa gw’omukwano.

Okuddamu ebibuuzo byonna omwambazi asobola okwekwata emisono gino n’anyuma. 1 Obuteeteeyi obuli mu kikula ky’obukooti. (Brazer Dress).

Buno bulinga ekkooti empanvu kyokka bw’okambala kafaananira ddala ekiteeteeyi nga buliko amapeesa.

Bw’okambala olina okugasiba n’oggumira bulungi era bubeerako n’emisipi mu kiwato egijjirako.

Buno bwa mubiri mugumu era ne bwe buba budde bunnyogovu kajja kukukolera ky’oyagala. 2 Ebiteeteeyi ebiwanvu.

Bino biruddewo era tebiva ku mulembe. Waliwo ebiriko siriiti n’ebitaliiko, ebyase waggulu n’ebitali byase.

Bino birungi nnyo ng’ogenda ku kyeggulo ne ku bubaga obuliko okutambulira ku “red carpet”. Osobola okubirondera mu langi nga bbulu, ez’amabala g’ebisolo (animal print) ppinki, emmyuufu n’endala.

3 Weekwate engoye za langi enzirugavu. Ekirungi nti langi enzirugavu y’emu kwezo ezigendeera ku Valentayini.

Noolwekyo osobola okwambala olugoye nga luddugavu era ekizifuula ennungi mu mbeera y’obutiti zikuuma ebbuggumu ate ng’omuntu ayambadde ebiddugavu era atwalibwa nga wa mutindo gwa waggulu (elegant).

Osobola okwambala ekiteeteeyi ekiddugavu, empale ya jjiini nga nzirugavu wabula okwongera okuggyayo amakulu ga Valentayini osobola okukwatirako akasawo nga kamyufu oba engatto nga mmyuufu. 4 Engoye z’obusweta.

Waliwo obuteeteeyi ne bbulawuzi ebikolebwa mu matiiriyo z’amasweta. Bino kwebiri ku mulembe era ssinga olonda langi entuufu ojja kunyuma ate obeere wanjawulo.

5 Omusono gwa Jump suit. Omusono guno wadde gulabika ng’oguluddewo kyokka ekigufuula omulungi nti teguboola.

Osobola okugwambala mu mulimu ate akawungeezi n’ogenda ku kabaga oba ekifo ekisanyukirwamu.

Engeri Valentayini gy’egenda okubaawo ku Lwokutaano, osobola okwambala ‘jump suit’ ng’ogenda ku mulimu, ate akawungeezi n’ogigenderamu mu kifo ekisanyukirwamu n’olabika bulungi.

6 Empale z’amagulu amagazi.

Abawala n’abakyala abambazi ennaku zino bettanidde nnyo okwesala empale z’ amagulu amagazi ze bayita ‘legeza’.

Zino nnungi nti omuntu azambala n’agenda buli wamu oba mu buli kifo n’alabika bulungi, N’olwekyo ssinga weekwata omusono guno ku Valentayini, ojja kulabika bulungi

 en ukooza nomwagalwa we  lizabeth abirye ku alentayini ya 2017 Ken Mukooza n’omwagalwa we , Elizabeth Babirye ku Valentayini ya 2017.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League