TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde.

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde.

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2020

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto n’ansuulawo.

Babe 703x422

Namirembe n’omwana we gwe yasooka okuzaala mu musajja omulala.

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde.

NZE Shakirah Namirembe, 24, mbeera Kanyanya Quarter Zooni mu Munisipaali y’e Kawempe n’omwana wange omu gwe nasooka okuzaala mu musajja omulala.

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto n’ansuulawo.

Nzaalibwa Nabweru mu Wakiso wabula maama wange yafa.

Nazaalibwa n’akawuka akaleeta siriimu n’olwekyo neetaaga endabirira gye sifuna bulungi mu kiseera kino.

Nasisinkana ne Mukiibi ng’olumu yeeyita Musoke e Kanyanya n’ahhamba nti muserikale wa bidduka ng’akola ne poliisi y’e Kanyanya. Nakkiriza byonna bye yahhamba kuba yali afaanana okuba owoobuvunaanyizibwa.

Mu ntandikwa twali tukolagana bulungi nga buli kimu akimpa. Obuzibu nabufuna ng’amaze okunfunyisa olubuto.

Yatandika okuneebalama nga tayagala na kumanya binkwatako.

Nawalirizibwa okumuloopa ewa bakama be ku poliisi okulaba nti ampa obuyambi, oluvannyuma lw’okumukunya, twategeragana buli lunaku ampe 5,000/- ez’emmere.

Ssente zino yali alina kuzimpa buli lunaku naye mu kiseera kino azimpa lw’ayagadde.

Yagaana okumpangisiriza ennyumba era kati nsula mu kiyumba ekyampebwa muzirakisa omu mu Kanyanya.

Mbadde nkola gwa kwoza ngoye ku kyalo okusobola okufuna ssente z’emmere naye kati sikyalina maanyi kubanga nsulirira kuzaala.

Ekinnuma kwe kuba nti Mukiibi amanyi nti ndi lubuto naye tangulirangako wadde akasuuka k’omwana.

Sigaanye tetukyalina nkolagana naye waakiri ssinga ampa obuyambi omuli ekyokulya n’okusula nandibadde kale.

Nsaba abazirakisa okumpa obuyambi nga bakozesa essimu yange nnamba 0703113177.

Nsaba n’akulira poliisi ya Uganda, Martin Ochola okukangavvula abaserikale nga bano abasiiwuufu b’empisa kubanga abawala bangi mu kitundu abayita mu mbeera nga gyendimu ng’obuzibu buva ku baserikale bano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...