TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abaalabye ekiteeteeyi kya Rema bakyatenda

Abaalabye ekiteeteeyi kya Rema bakyatenda

By Martin Ndijjo

Added 10th March 2020

EKITEETEEYI kya Rema Namakula kicamudde abadigize ate ne kireka abamu nga bawuniikiridde. Bwe yabadde ayimba mu kivvulu kye ekyabadde mu Freedom City ku lunaku lw’abakyala, ng’oggyeeko okukuba abawagizi be emiziki egy’okumukumu egyabafuukuddde, mu birala ebyacamudde gye misono gy’engoye Rema bakira gy’akyusa

Rema1 703x422

Rema yakyusizza emirundi egiwera.

Yasookedde mu ‘jumpsuits’ eya ‘siriva’ ku ngulu ng’ateereddeko akakooti akawanvu akaddugavu nga kakweya wansi.

 

Yayimbye ennyimba ttaano ez’okumukumu oluvannyuma n’ava ku siteegi n’alekako King Saha. Rema yakomyewo mu sitayiro bwe baggyeeko amataala gonna okuziyiza abantu okulaba ekyabadde kigenda mu maaso era mu kiseera kino waabaddewo akeetalo ng’abayambi ba Rema bamuleeta ku siteegi.

Yazze ayambadde ekiteeteeyi ekinene, ekiddugavu ekyetooloovu nga kiwaniriddwa abantu mukaaga.

Olw’obuwanvu bw’olugoye luno baamuteereddewo obumeeza kwe yalinnye era buno bwabulidde mu munda mu kiteeteeyi.

Oluvannyuma lw’eddakiika nga ttaano bazzizzaako amataala era wano obwedda buli akuba eriiso ku siteegi nga yeewuunya Rema kye yabadde ayambadde.

 

Yamaze eddakiika nga 30 ng’ayimiridde mu kifo kimu nga w’ayimbira olw’obuzito n’obunene bw’ekiteeteeyi kino.

DIZAYINA WA REMA AYOGEDDE

Fatumah Asha eyatungidde Rema ekiteeteeyi kino yategeezezza nti guno mulundi gwakubiri ng’ayambala omusono guno.

Ogwasooka yali ku kivvulu kye ekyali ku Africana omwezi oguwedde. Fatumah agamba Rema yamutuukirira n’amusaba okubaako olugoye lw’amutungira oluyinza okumulabisa nga wanjawulo naye kwe kumutungira dizayini eno eyitibwa ‘Cinderella’ Kyatungiddwa mu matiriyo wa ‘Crape’ nga kiriko obuwanvu bwa mmita 40 era agamba basobola okutunga ekisingako ne wano obuwanvu okusinziira ku muntu ky’ayagala.

Fatumah agamba ekiteeteeyi kino si kya ku siteegi kwokka, omuntu asobola okukyambala ne ku mikolo emirala.

Ate munnabyamisono Rebecca Nalunga yasoose kusiima kiteeteeyi kya Rema n’agamba nti kyamulembe era kyamulabisizza ng’omuyimbi owa kkiraasi kyokka yakyambalidde mu kifo ekizibu.

Nalunga agamba omusono nga guno gunyumira ku bubaga oba ebivvulu eby’abantu aba kkiraasi nga bali mu kifo eky’ebbeeyi nga Serena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono