TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Tukuleetedde ebintu 15 abakazi byebasinga okwagala ku basajja

Tukuleetedde ebintu 15 abakazi byebasinga okwagala ku basajja

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2020

Tukuleetedde ebintu 15 abakazi byebasinga okwagala ku basajja

Don1 703x422

“ABAKAZI twalaba kuba ne bw’olaba akulya obwongo toyogera, omulaba era ssebo ne weegumya kuba nnyabo oli mukazi, mwabitandika bubi abaatusooka.....” Ebyo bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Mariam Ndagire olwa Abakazi twalaba.

Ebigambo ebiri mu luyimba luno byongera okukakasa nti abakazi bangi abatunuulira abasajja oba abavubuka ne babasikiriza, wadde ng’ebiseera ebisinga basirika ne balinda abasajja abo babagambeko.

Wabula oluusi engeri omusajja gy’aba takimanyi era tekibaawo olwo omukazi n’asigala nga kimulumira muli. Ye Joan 35, ng’akolera mu Kampala embeera efaanana bweti yamususseeko kwe kusalawo okubuulira ku banne bamusalire amagezi.

“Ku myaka gye nnina mbadde sirabanga musajja ansikiriza nga John.., era buli lwe mmutunulako omutima guntyemuka be ttuu... ne mmera n’olutiko!” Bwatyo Joan bwe yatandise emboozi ng’ali ne banne Maria ne Sarah.

Bannakyala bano baabadde mu bbaala emu ku Centenary Park ku Jinja Road gye baabadde bagenze okwewaamu ku Lwaokutaano akawungeezi. Banne baamuwadde amagezi alabe engeri gy’afuula John mukwano gwe engeri gye bakolera awamu, nti osanga naye (John) anaatandika okumulabawo.

Sarah yatuuse n’okumuwa obukodyo bw’okutonera John obulabo n’okumufaako mu ngeri ey’enjawulo nti olwo ajja kusomera ebbaluwa mu bbaasa.

Wabula baamulabudde ku kabi akayinza okuvaamu naddala ssinga ensonga zino taata w’abaana azimanyaako; anti Joan mufumbo.

Maria yamubuuzizza nti, “Naye watya nga by’olowooza John tabiriiko? Olaba bw’oswala mu maaso ge? Ate ayinza n’okukulaalaasa mu bakozi banno..” Okusikirizibwa kya butonde era abasajja n’abakazi babeerako abantu ababasikiriza.

Ku ludda lw’abasajja bw’alaba omuwala oba omukazi amulabikidde obulungi kyanguwa okumukwana. Ebisinga okusikiriza abasajja mulimu, obulungi bwa ffeesi, langi, ffi ga, akabina, entumbwe, amaaso n’ebirala ng’ebyo.

Wadde abasajja bangi balowooza nti abakazi basinga kusikirizibwa ssente, naye waliwo ebintu ebisikiriza abakazi, wadde ng’oluusi beesanga nga basirika ne bafa ekimugunyu. Cissy Nannyondo Muzaana abuulirira abawala n’abafumbo ng’abeera Kajjansi agamba nti ng’omusajja bw’alaba omukazi n’amwegomba, n’abakazi balaba abasajja ne babeegomba ng’afuuyirira kanwe waakiri amugambeko.

Muzaana agamba nti ebimu ku bintu ebisinga okukuba abakazi ku basajja bye bino

1 Omubiri n’ekiwago. Abakazi bangi baagala omusajja alina ekifuba ekigazi, ennaku zino kye bayita ‘bboodi’.

Bagamba nti ow’ekika Ebisikiriza abakazi ne ‘bagwa amatu’ kino bw’omugwa mu kifuba obeera obuliramu bulungi ekyongera okukuwa emirembe. Kino kye kireetedde abavubuka n’abasajja okugenda mu jjiimu okukola ekifuba kifune ku mubiri n’ebinywa. Ng’oggyeeko ekifuba, abakazi basikirizibwa abasajja abalina emibiri emigumu okusinga abalina egirebera ng’egy’abakazi.

2 Emibiri gy’abasajja egiriko ebyoya nagyo gisikiriza abakazi. Muno mugenderamu ekirevu, kakoba, emikono n’ebitundu ebirala. Omukazi bw’alaba omusajja alina ebyoya kyongera okumukakasa nti musajja mmekete, okusinga oyo atalinaako kantu. Omukazi bw’ayisa omubiri gwe ku byoya by’omusajja kirina engeri gye kimunyonyoogera era n’afuna n’obwagazi.

Noolwekyo buli lw’alaba abirina ate ng’alina n’ebintu ebirala by’ayagala kyangu okusikirizibwa.

3 Ennyambala y’omusajja. Teri mukazi ayagala musajja amala geeyambalira. Omusajja ayambadde n’anyuma asikiriza abakazi. Ate bw’agattako okwekuba akawoowo akalungi kiyitirira.

Omukazi ne bw’aba tannalaba ku buzito bwa waleti yeesanga agudde amatu. Kino abasajja n’abavubuka Bannakampala baakiyiga, era bangi batengudde abakazi omuli n’abagagga b’omu Kampala ne babawa n’ebyobugagga lwa kwambala bulungi. Bano bafuna engoye ez’ebbeeyi, engatto ne kalonda yenna olwo abakazi bwe babalabako ne bagwa amatu okukkakkana nga babaganzizza.

4 Obuwanvu nayo nsonga nkulu esikiriza abakazi. Abakazi bakitwala nti omusajja y’ateekwa okuba omukuumi mu mbeera yonna, noolwekyo omusajja bw’abeera omuwanvu era ng’alina n’ekiwago kyangu okulwanirira munne. So nga bwe kiba ku musajja omumpi nga mutono kiyinza okuzibuwala.

Abakazi era bagamba nti omusajja omuwanvu y’alagika mu bantu era anyumira n’ebyambalo.Abakazi era bakimanyi nti omusajja omuwanvu ne mu nsonga z’ekisenge abeera yeemala bulungi, so ng’omumpi bakitwala nti era abeera mumpi mu mbeera zonna n’ezekisenge.

5 Obulungi bw’omusajja. Endabika y’omusajja nayo oluusi esikiriza abakazi. Nga bwe waliwo abakazi abalungi mu ffeesi, era n’abasajja bwe batyo. Omusajja alina ffeesi empanvu (dog face) alabika bulungi okusinga owa ffeesi ey’amatama. Abakazi basikirizibwa abasajja abalungi nga bagamba nti bajja kubazaalira abaana abalabika obulungi.

6 Endabika. Muno otwalira mu langi y’omusajja n’engeri gye yeerabiriramu.

Waliwo abafi ira ku basajja abaddugavu kagongolo nga bagamba nti bano baba n’amaanyi ga nsusso, so ng’abalala baagala beeru oba owakatakketakke. Engeri gye yeerabiriramu okugeza, bwe kaba kalevu akasala bulungi abamu babeera ne kakoba oba obulevu bwa ‘channel o’, enviiri ng’azifaako kwe kugamba ng’omuwala amutunulako omulundi gumu amalusu n’amira muganda.

7 Enjogera oba eddoboozi. Lino nalyo lisikiriza naddala bwe liba ddene bulungi ate nga ne nnannyini lyo amanyi engeri y’okulyogezaamu. Kino kisinga kubaawo ku bantu ababeera mu bifo ebimu ebbanga eddene, okugeza nga bakolera wamu mu ofi isi, mu dduuka, abayizi ba yunivasite oba awantu awalala wonna.

Omuwala n’abeera awo nga buli omusajja oba omuvubuka lw’ayogera awulira asaanawo mu mutima. Ate eddoboozi liyinza obutaba ddene, naye nga nnannyini lyo ayogeza ssimbo era ekisikiriza abamuwulira.

8 Entambula. Nga bwe guli ku basajja, omukazi n’abayitako ne balaba bw’atambula obulungi, n’abakazi bwe guba. Omusajja atambula obulungi ng’ataddemu ‘esswaga’ asikiriza abawala okusinga atambula ng’asaayirira. Waliwo omusajja atambula obulungi era ng’omukazi buli lw’amulaba amutambulira mu mutima.

9 Enneeyisa. Waliwo omusajja gw’otunuulira n’omanya nti ddala baamukuza, nga tolimusanga ng’aleekaana mu bibooziboozi ebitaliimu makulu, tolimusanga ng’avaamu ekigambo ekivuma, tatambula ng’alya, tolimuwulira ng’ayogerera waggulu, abeera mukkakkamu mu buli kimu nga naawe bw’oba mukyala toyinza butakubwa olw’ebikolwa by’omusajja oyo.

10 Obuyonjo bw’omusajja. Omuntu yenna obuyonjo bwe busooka kweyolekera ku byaba ayambadde. Waliwo abasajja ng’okuva ku makya okutuuka akawungeezi abeera muyonjo, essaati ayambala za langi ezitakweka ttaka naye nga toligisanga ng’eddugala.

Bino abalala bye baddugala ebitogi ekikye kiba kiyonjo lubeerera, akagatto akakuba eddagala ne linoga, sitookisi ayambala zitukula, tolimuwulira ng’avaamu akasu ne bwe guba musana nga gusiibye gwememula.

11 Ekikula ky’amannyo. Ekimu ku bintu ebitera okukuba abakyala ku basajja y’ensengeka y’amannyo gaabwe mu kamwa. Omusajja alina amannyo ageesengeka obulungi ate nga meeru, buli lw’amwenyaamu abamulaba naddala abakazi aleka emitima gyabwe agityemudde.

Ekyo kyokka kimala okufuukuula omukyala era weesanga ng’omukazi ayagala nnyo okukola ebisanyusa omusajja oyo asobole okubeera nga buli kiseera aseka oba amwenyaamu.

12 Obusanyufu bw’omusajja. Ekitonde ekikazi kyatondebwa nga kyagala nnyo okubeera n’omuntu nga musanyufu era abasajja ababeera abasanyufu buli kiseera balina emikisa mingi obutakaluubirizibwa kufuna bakazi okusinga abo ababeerawo nga ffeesi zibeekapye.

Ky’ova olaba abasajja abayitibwa ‘abaniga’ weesanga nti bawangula emitima gy’abawala oba abakyala ne weewuunya kwe kiva kyokka ng’ensonga eri nti abasajja abo babakolera ebibasanyusa, bazannya nabo n’ebirala ebiringa ebyo.

SSENTE TEZISIKIRIZA?

Nannyondo agamba nti kituufu ensangi zino abakazi bangi abatwalibwa olw’ensimbi, naye emirundi egisinga ojja kwesanga nti ng’oggyeeko ssente, omusajja gw’aganzizza alina ebimu ku bintu ebyo waggulu.

Ssente nkulu mu nsonga z’omukwano kubanga era ojja kwesanga nti omusajja atalinaawo kiyinza okumuzibuwalira okwambala mu ngeri eneesikiriza omukazi. Ojja kwesanga nti omusajja eyeefaako okulabika obulungi era alinamu ne ku kasente akajja okwongera okusikiriza omukazi.

ABATASIKIRIZA TEBAFUNA BABEEZI?

Kizibu omusajja okudiba, era ebiseera ebisinga omusajja bw’abaako omukazi gw’ayagala afuba n’amufuna. Wabula omukazi okukkiriza okuganza oba okufumbirwa omusajja oluusi tekitegeeza nti amusikiriza.

Abakazi bangi batwalirizibwa olw’omusajja oyo amukwanye okumulaga nti amwagala, olwo ye omukazi n’atafaayo kwebuuza oba nga ddala naye amusikiriza. Emirundi mingi abakazi bafumbirwa abasajja si lwa kusikirizibwa, wabula lwa mbeera ebaawo mu kiseera ekyo, naddala ng’omusajja ali siriyaasi, ate nga n’omukazi ayagala kufumbirwa. Bangi abali mu bufumbo naye ng’omuntu gw’awangaala naye talinaako kintu na kimu kyamusikiriza kumuganza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

Top1 220x290

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza...

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza ab’e Kalungu