TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abawala boogedde ebisinga okubakuba ku basajja

Abawala boogedde ebisinga okubakuba ku basajja

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2020

Abawala boogedde ebisinga okubakuba ku basajja

Gal1 703x422

Vero Nabuyondo.

Vero Nabuyondo. Nze omuvubuka amanyi okwambala ankolera. Waliwo omuvubuka gw’otunuulira nga mu butuufu anyumye, agolodde bulungi n’akuba ekikalu, asibye essaawa ya bbeeyi, ayambadde engatto erabikako, yeekubye akawoowo akamala, oyo ankolera era okusinziira ku ndabika ye ne bw’aba tannandaga kiri mu waleti ye ebyo bimmala okumanya nti yeesobola.

Obulungi bw’omusajja nabwo kikulu gyendi. Waliwo omusajja gw’otunulako n’omutima gwo ne gusooka gwekangamu nga yalungiwa n’asukka, akaviiri k’asala keeko, akalevu akasaze bulungi ne katereera bulungi

 Babirye

Aisha Babirye. Ebintu ebisobola okunkuba ku musajja mulimu entunula ye. Waliwo ggaayi asobola okukutunuuliza ekisa ng’ekyamazima omutima gwo tegusobola kusigala kye kimu.

N’omusajja omuwanvu ankuba. Oyinza okutunuulira omuvubuka nga muwanvu bulungi ate ng’alinamu ekiwago nga bw’akuyitako toyinza kulemwa kukyuka kumutunuulira. Era bw’oba okyanoonya, oyinza okusaba waakiri akugambeko.

Okwo bw’ogattako obulungi bwe kubanga waliwo omusajja nga ye mulungi ebimenya amateeka. Oweewange obulungi bwe bwe bwantengula ng’ansaba omukwano ne nzikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

Top1 220x290

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza...

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza ab’e Kalungu