TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange yafuna omusajja omulala

Mukyala wange yafuna omusajja omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2020

MUKYALA wange yafuna omusajja omulala n’akihhamba era nti mwesonyiwe. Nze nkola safaali naye ava awaka n’amalayo ennaku ssatu n’akomawo.

Hhh 703x422

Abaana bali mu kisulo kale alina emirembe okukola ky’ayagala.

Ssenga njagala kugoba mukyala ono kubanga okumala emyaka ebiri ng’ayendera mu maka gange.

Ssenga oba omukyala yandoga?. Lwaki simugoba. OLI musajja mugumiikiriza nnyo kubanga omukyala n’abeera n’abasajja abalala n’akikugamba nti omwesonyiwe naye n’ogaana okumuleka mba sikutegeera.

Sirowooza nti omukyala ono yakuloga nga bw’olowooza. Oluusi omukwano gw’olina n’omukyala ono gukulemesa n’ogaana okumugoba.

Oluusi bw’olowooza ku baana bo nga toyagala mukyala mulala kubakuza gwe n’omuleka.

Ate kubanga okola safaali, kitegeeza nti ebiseera ebisinga ky’akola tokiraba kubanga obeera ku mirimu gyo. Kyandibadde kirungi weesonyiwe omukyala ono.

Simanyi oba mwegat ta naye ajja kukuleetera obulwadde n’obutemu kubanga omusajja oli gw’ayagala oba abasajja b’ayagala basobola okukukolako obulabe.

Ekirala, weebuuze oba onoosobola okubeera n’omukyala ono, kubanga akuyisa nga atali bba. Weesonyiwe omukyala ono kubanga era naye yakikugamba. Eby’okukuloga biveeko okola ky’olina okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza