TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge

Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2020

Ensangi zino abafumbo bangi baawudde ebitanda ekiggyewo sikwiizi w’omu kitanda n’okukendeeza oba okumalirawo ddala essanyu ly’abafumbo oba abaagalana mu kisenge.

Abafumbo3 703x422

ABAALI banyumiddwa amazina ga sikwiizi nkakasa mukuba obufaananyi nga mukwataganye ne munno muli ng’owulira akabugumu akamuva mu mubiri n’engeri entunnunsi gye zibeera zikuba! Okwenyiga okubeerawo bwe kutwala akaseera kulina obubaka bwe kuweereza ku bwongo bwa munno era wano omusajja w’awulirira ng’atuuse mu mbeera eyeetaagisa munne okumubudaabuda.

Ne sikwiizi w’omu kitanda bw’abeera ng’abaagalana oba abafumbo balina kumutuukako nga basula mu kitanda kimu. Wabula ensangi zino abafumbo bangi baawudde ebitanda ekiggyewo sikwiizi w’omu kitanda n’okukendeeza oba okumalirawo ddala essanyu ly’abafumbo oba abaagalana mu kisenge.

 acheal izito ngannyonnyola Racheal Kizito ng’annyonnyola.

 

EBIVAAKO OKWAWULA EBITANDA

Okwawula ebitanda, okusinga kitera kuva ku busungu oba obkukyayi abaagalana bwe bafuna. Waliwo abakiteeka ku bwenzi nga bwe wabeerawo eyeekengedde munne okubaliga, ekiddirira kitera kubeera kwawula bitanda.

Ab’engeri eno babeera na busungu nga babonereza bannaabwe olw’okulabankana ne bajaajaamya omukwano gwabwe so ng’abalala babeera beekengera bannaabwe okubaleetera endwadde.

Mulimu abaawula ebitanda olw’ebikolwa oba emize abaagalana gye bazuula mu bannaabwe.

Oluusi kubeera kunywa mwenge oba ssigala, abalala kiva ku butanaaba so nga waliwo n’abafuluuta ne bamalako bannaabwe emirembe ekiro kyonna.

Munno bw’ayitiriza omwenge oba ssigala ate nga ggwe tobikombako kitera okukaluubiriza okusula naye.

Agumye abeera mu mbeera ya kuggwebwaako mirembe olwo atali mugumiikiriza ayiiya kya kwawula bitanda.

Abakyala bwe bazaala batera okugoba abasajja mu buliri anti olwo nga basula na baana.

Batera kuwa nsonga ya kusigala nga bayonsa bbebi ekiro mpozzi n’okumanya ebifa ku mwana ekiro olw’okukaluubirizibwa okusitunkana.

Bw’osanga omukazi azzaako amangu, omusajja ayinza okwesanga ng’amaze emyaka egiwera nga tazzeemu kusulako na munne oba obutaddiramu ddala.

Obadde okimanyi nti omusajja bw’abaako ky’alemeddwa okukolera omukyala okugeza okulemwa okumuwa ssente za bizinensi, abamu kubeera butamugulira lugoye, ngatto n’obutasasula ffi izi za baana bivaako nnyo okwawula ebitanda! Abakyala okwawula obuliri bakikozesa nga kibonerezo nga baluubirira omusajja okwetereeza okusobola okukola ky’ayagala.

Waliwo abakazi abakola obwenzi nga okwawula ebitanda bakikozesa nga kyakulwanyisa omusajja obutamugwamu oba ‘okumutawaanya’ ekiro ng’amusaba omukwano so ng’alina gye yayitidde edda.

 auline alema kwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi nobukaba olwokwagala okuyitako ebbali mu mbeera yokweggyako ennyonta ya laavu Pauline Kalema: Okwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi n’obukaba olw’okwagala okuyitako ebbali mu mbeera y’okweggyako ennyonta ya laavu.

 

 

Ebizibu ebiva mu kwawula ebitanda 

Joseph Lutwama abuulirira abafumbo n’abaagalana n’okutabaganya abasoowaganye ng’akolera mu Nana Counselling services agamba nti munno buli lw’omuleka nga yeezinze mu kitanda obwomu, obeera ng’amusindika okugenda okunoonya essanyu oba akabugumu awalala.

Kino tekibeerako mukazi oba musajja kuba bwe bubeera busungu nga bw’olina ku munno, abamu basalawo okufunayo abawa ekikubagizo; ky’agamba nti awo okubaliga kubeera kuyingiddewo.

2 Lutwama agamba nti embeera eno ereetera abafumbo oba abaagalana okutandika okulowooleza munne ebintu by’atakola.

Omusajja wano w’atandikira okuteebereza mukyala we nti osanga alina abasajja abalala kuba embeera y’okwawula ebitanda eyinza okubaviirako okutwala ebbanga lya wiiki, mwezi oba emyezi nga temwegatta.

Kino kireetera omusajja obusungu oba situleesi etuuka n’okumulowoozesa nti osanga yamuzira.

 kwekubagiza kubeera kungi awaka Okwekubagiza kubeera kungi awaka.

 

3 Okwawula ebitanda olw’okuba munno alina kye yakusabye n’otakituukiriza, nakyo kirina engeri gye kiyinza okusindika munno okugezaako awalala.

Embeera eno etera kweyolekera mu bakazi bwe basalawo okunoonya obuyambi awalala okufuna kye baagala.

Bwe babeera tebeewoze mu bibiina oba mu booluganda, bafuna basajja balala ate nga bano ebyabwe bibeera bya ‘kusasula’.

4 Wabula Lutwama agamba nti ate waliwo obugumiikiriza we bwetaagisa naddala ku ludda lw’abakyala nga baliko bye basabye babbaabwe ne balwawo okubituukiriza.

Akyesigamya ku mbeera y’ebyenfuna enzibu nga munno oyinza okumukanda ssente nga naye tazirina olw’obuvunaanyizibwa obungi obumwetuumako omuli okusasula ennyumba, okuwaayo ffi izi, okusasula bbiiru okuli amasannyalaze, kasasiro, amazzi, ttivvi, ggaasi afumba gattako emmere, amanda, ebyokulya n’ebirala.

5 Waliwo embeera ereetera abasajja abamu okunafuwa mu nsonga z’omu kitanda. Oluusi gibeera myaka nga bakuliridde, okukola ekisukkiridde, situleesi ya ssente oba omulimu, endya embi nga bino bireetera abasajja okubeera abanafu mu kitanda.

Embeera eno bw’ogigattamu okwawula ebitanda obudde bubeera buzze ku bunnaabwo kuba obwagazi bujja bbalirirwe.

Kye kiva kyetaagisa omusajja ali mu mbeera eno okusula mu kitanda ekimu ne mukyala we nti obwagazi we bujjira kibeera kyangu okubaako kye yeekolera ng’amaanyi gakyalimu kuba ‘amaanyi’ gaabwe gatera okubeera ag’ekiyita mu luggya.

6 Embeera eno era etera okuleetawo okuyombayomba mu baagalana, situleesi, okwerangira mpozzi n’okulwana.

Ekisenge kye kitera okubeera ekkooti y’abafumbo nga bwe mubeera n’obutakkaanya gye mubugonjoolera.

Lutwama agamba nti abaagalana bwe baawula ebitanda, yadde abamu batuuka ne ku ssa ly’okwawula ebisenge, oluusi tebafuna mukisa kwogera ku nsonga ebeera ebanyiga.

Agamba nti kye kiva kyetaagisa okusigala nga musula mu kitanda kimu olwo ne mufuba kumalawo ebibanyiiza.

Pauline Kalema: Okwawula obuliri abafumbo abasinga mwe bafunira endwadde naddala eziva mu bwenzi n’obukaba olw’okwagala okuyitako ebbali mu mbeera y’okweggyako ennyonta ya laavu. Okuggyawo sikwiizi w’omu kitanda lwe kukendeeza essanyu ly’omu kisenge Okwekubagiza kubeera kungi awaka

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...