TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanoonyeza mu Bukedde bamuzaalidde ssukaali

Eyanoonyeza mu Bukedde bamuzaalidde ssukaali

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2020

EYALABIKIRA mu Banoonya ba Bukedde afunye ezadde ne yeebaza Bukedde okumufunira omukazi.

Aba2 703x422

Phillip Kaggwa owa Abanoonya ng’ali ne Kamoga ne Margaret ne bbebi waabwe.

EYALABIKIRA mu Banoonya ba Bukedde afunye ezadde ne yeebaza Bukedde okumufunira omukazi.

Eddie Kamoga 27, omutuuze w'e Munyonyo agamba nti okuva lwe yafuna mukaziwe, Margaret Nambalirwa mu 2017, obulamu bwe bwakyuka kuba amulinnyisizza eddaala.

Emboozi ye aginyumya bwati; Mukazi wange namufunira mu Banoonya ba Bukedde. Nambalirwa y'omu ku bakyala abannemerako okunkubira essimu.

Olwamulaba namusiimirawo kuba yalina ebisaanyizo bye njagala ne nsalawo okumwewangulira.

Ekiseera kye tumaze ne mukyala wange buli olukya embeera yeeyongera kutubeerera nnungi kuba yajja n'emikisa mu maka gange.Yansanga sirina kye nnina ng'embeera si ya mulembe.

Naye tugezezzaako okukolera awamu ne tubaako bye tusobodde okwetuusaako omuli n'okukyusa obulamu bwaffe.

Yansanga nkozesebwa naye kati nneekozesa era twatandikawo kkampuni era yawandiisibwa mu kitongole kya Gavumenti ekikola ku by'okuwandiisa amakampuni mu ggwanga.

Mu kiseera kino Eyanoonyeza mu Bukedde bamuzaalidde ssukaali tukozesa abakozi abasoba mu kkumi.

Twagula poloti era ttuli mu ntegeka ya kuzimba nnyumba. Nnali ntambuza bigere nga sinamufuna naye kati twagulayo mmotoka mwe tutambulira.

Yeeyongedde okundaga omukwano n'okumpa essanyu bwe yanzaalidde ssukaali era nange okumulaga okwagala kwange ntegeka kumwanjula n'okumukuba embaga omwaka ogujja,” bwe yamalirizza.

Ate Margaret Kamoga 30 agamba nti okwagalana kwabwe kwegombesa bangi kuba abasinga babayita balongo olw’engeri ye baagalanamu.

Ekimu ku bisinze okubayamba okukuuma omukwano gwabwe kwe kubeera nga buli omu ategeera munne n’amanya biki by’ayagala ne by’atayagala ne yeebaza Bukedde okumufunira omwami

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...