TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Owa laavu ejjira ku kkiisi Coronavirus atuuse okukulemesa!

Owa laavu ejjira ku kkiisi Coronavirus atuuse okukulemesa!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2020

SSENNYIGA wa Corona Virus, bw’atuuse mu baagalana n’akuba ‘nkulimba’. Ebikolwa ebimu eby’okusinda laavu ng’okukuba kkiisi, okukomba ebbakuli byonna biri mu lusuubo

Aba33 703x422

Bano baabadde balya bulamu ku One Ten Club gye buvuddeko.

SSENNYIGA wa Corona Virus, bw’atuuse mu baagalana n’akuba ‘nkulimba’. Ebikolwa ebimu eby’okusinda laavu ng’okukuba kkiisi, okukomba ebbakuli byonna biri mu lusuubo.

Bannassaayansi bakyakola naye engeri gye bagamba nti kyetaaga buyonjo, tetumanyi oba nga gye binaggweera nga ne Kiyira bamugambye nti abamulina bamukendeeze.

Kubanga ggwe omukazi oyinza okuba nga wanaabye, naye nga ye omusajja gw’oli naye mu kaboozi, okuva ku makya bwatyo bwali.

Kati mu kumuteera Kiyira, n’okuba obuwuka buno obumuli ku mubiri ne bukwesogga. Ate ng’abasawo baagambye nti bwo bwezira kulaba awatobutobu nga bulumba.

Kati bannabukalu bagenda okudda ku mulembe! Oba n’abasajja ababadde basaba amazzi nga bali mu kaboozi, bagenda kutuuka okwegayiriranga bannyini go bagasibe.

Wabula ate ekizibu ekiriwo nti gy’okoma okugamba omukazi asibe amazzi ago nga yabadde acamuse bulungi, ate gy’akomya okugasumulula; wamma ne lwogooma.

Ebyo eby’omusajja okukwata omukazi eri wansi mbu amuteeka mu muudu, nabyo kati bya mpuna.

Mpozzi ng’amaze kunaaba mu ngalo. Kubanga engalo z’omusajja bwe ziba nga tannazinaaba, n’akwata mu bbakuli ya munne, ayinza okumuyingizaamu akawuka nga tategedde.

Laba nnabe bw’agwa! Ate ebyo ebyokwegwa mu kifuba kubanga owulira omuntu wo omwagala okufa, nabyo kati bifu.

Kubanga laba bw’ogwa munno mu kifuba nga yaakayingira ekisenge kubanga osanyuse okumulaba n’okuba nti omwebaza olw’ebyo by’agenda okukukolera nga tannasiibula naye ate olw’okuba omubiri gwo gubadde mucaafu, n’omusiiga! Wano nno emberenge w’egagidde.

Kubanga olaba otya ku ssavu lyo ate n’osooka odduka onaabe osobole okujja okuliwa haaga! Kati ne kituuka ku bawala abatera okweyazika engoye ku bannaabwe nga bagenda okukyalira abalenzi baabwe.

Laba bwe weeyazika olugoye nga nnyini lwo yalwambala n’alekamu akawuka ka Coronavirus! Ggwe n’olowooza nti onyumye, era n’omulenzi wo olukulabako wamma n’atyemuka emmeeme naye ng’oleese nawookeera wa vayiraasi agenda okubayiribya oba oluusi n’okubasaanyaawo! Bino byonna kye bisongako, kyakukyusa mbeera na kuyiga kubikka ku maddu.

Era n’okukyusa emmeketa y’akaboozi.

Kiisi muzikube naye nga mumaze kunaaba.

Ebyo bye muwoza mbu ate bw’omala okunaaba ebbugumu liba ligenze, mubiveeko. Kati mukimanyiire nti wadde munno aba akyannyogoga oluvannyuma lw’okunaaba, kkiisi gimuwe; kale y’eneekomyawo ebbugumu.

Mukyuse embeera! Emboozi eno mugyogereko ne daalingi wo mulabe bye mulina okukyusaamu, si kulwa ng’omu ku mmwe ate atandika okulowooza nti munne yamukyaye ng’amulaba akyusizzaamu; ng’aleeta emimwa bagikombe, ate nga munne agiddusa! OMWAMI waffe yaηηambye nti tova mu ssimu ye.

Otandise n‛okukubira mukamawe ng‛omugamba nti ayagala omwami waffe. Era kati agambye nti essimu agenda kugiteekamu ‘pass word‛ era tokitwala bubi naye olw‛embeera zo kubanga yaswadde ewa mukama we.

N‛ekirala ne mwannyina naye wamuvuma jjuuzi nga tokimanyi kubanga erinnya yateekamu ‘Baby wange‛.

Ate ng‛erinnya eryo ffenna tulimanyi bulungi nti omwami waffe ly‛ayita mwannyina. Kati mwana wange okwo Owa laavu ejjira ku kkiisi Coronavirus atuuse okukulemesa! kubeera kumanyiira.

Nga ggwe bw‛otoyagala kukwata ku ssimu yo era n‛essimu y‛omusajja gyesonyiwe. Olaba bw‛omuswaza ng‛oyogera ne mukamawe ng‛omuvuma nga bw‛ayagala omwamiwo! N‛ekirala era n‛oyomba ne mwannyina ng‛omuvuma nga bw‛ayagala omwami wo! Mwana wange ekigambo ssimu giveeko era mutuufu ddala okukugamba nti agenda kuteekamu ‘password‛ nga tosobola kumanya bamukubira era yadde gwe okukuba essimu ye.

Oba omwami waffe yakuwa ‘pass word‛ y‛essimu ye ng‛osobola okugikozesa ng‛oyagala ssente, nze ndowooza kino yakikola ng‛amanyi nti tolina kizibu ky‛ogenda kusanga era omwesiga.

Naye ate bw‛akugamba ebirala ate n‛otandika okunonooza okulaba ani akubye ate naawe n‛omukubira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi