TOP

Lwaki teweesonyiwa essimu ya balo?

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2020

OMWAMI waffe yaηηambye nti tova mu ssimu ye. Otandise n‛okukubira mukamawe ng‛omugamba nti ayagala omwami waffe.

Hhh 703x422

OMWAMI waffe yaηηambye nti tova mu ssimu ye. Otandise n‛okukubira mukamawe ng‛omugamba nti ayagala omwami waffe.

 

Era kati agambye nti essimu agenda kugiteekamu ‘pass word‛ era tokitwala bubi naye olw‛embeera zo kubanga yaswadde ewa mukama we.

N‛ekirala ne mwannyina naye wamuvuma jjuuzi nga tokimanyi kubanga erinnya yateekamu ‘Baby wange‛.

Ate ng‛erinnya eryo ffenna tulimanyi bulungi nti omwami waffe ly‛ayita mwannyina. Kati mwana wange okwo Owa laavu ejjira ku kkiisi Coronavirus atuuse okukulemesa! kubeera kumanyiira.

Nga ggwe bw‛otoyagala kukwata ku ssimu yo era n‛essimu y‛omusajja gyesonyiwe.

Olaba bw‛omuswaza ng‛oyogera ne mukamawe ng‛omuvuma nga bw‛ayagala omwamiwo! N‛ekirala era n‛oyomba ne mwannyina ng‛omuvuma nga bw‛ayagala omwami wo! Mwana wange ekigambo ssimu giveeko era mutuufu ddala okukugamba nti agenda kuteekamu ‘password‛ nga tosobola kumanya bamukubira era yadde gwe okukuba essimu ye.

Oba omwami waffe yakuwa ‘pass word‛ y‛essimu ye ng‛osobola okugikozesa ng‛oyagala ssente, nze ndowooza kino yakikola ng‛amanyi nti tolina kizibu ky‛ogenda kusanga era omwesiga.

Naye ate bw‛akugamba ebirala ate n‛otandika okunonooza okulaba ani akubye ate naawe n‛omukubira ate ng‛oyomba nze ndowooza nti wakola bubi ddala.

Nkimanyi era abakyala bangi banonooza amasimu g‛abasajja naye ate bw‛olaba omusajja ng‛akuwadde omukisa ng‛ogwo ng‛omanya nti teri kyakola kibi ku ssimu eyo.

Era bw‛aba akikola alina engeri gy‛akikola gwe oleme kumanya.

N‛ekirala mwana wange ng‛omusajja ayagadde kwenda ggwe ng‛omukyala tosobola kumugaana.

Ne bw‛ovuma abakyala b‛olowooza nti abaagala ggwe omukyala ggwe oswala. Ate oba gwe mukyala ali awaka era olina okweyisa ng‛omukyala w‛aka.

Abakyala abafumbo tebayomba ku nsonga ng‛ezo ate nga si ntuufu.

Tolina kufaanana ate bakyala abalala olina kweyisa ng‛omufumbo. Mwana wange essimu giveeko totuswaza ku mulimu gwa balo era naffe abakuzaala.

Olina okwetondera mulamuwo simanyi bw‛oneetondera mukamawe naye nsuubira nti omwami waffe ekyo yakikola.

Beera omukyala omufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...