TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’osaana okumanya ku kusinda omukwano

By’osaana okumanya ku kusinda omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2020

OKUSINDA omukwano tekukoma ku kukkakkanya busungu bwokka wabula kukola ng’eddagala ne ku birala

Abafumbo5 703x422

OKUSINDA omukwano tekukoma ku kukkakkanya busungu bwokka wabula kukola ng’eddagala ne ku birala.

1 Okuwonya obulumi: Joseph Lutwama akola ogw’okubudaabuda abantu omuli n’abaagalana owa Nana Counseling Services agamba nti okusinda omukwano kusumulula obusimu obukkakkanya obulumi mu mubiri era buzuuliddwa nti bukendeeza ku bulumi obubeera mu magulu, buwonya omutwe oguluma, n’obulumi abakazi bwe bafuna mu ndira nga bagenda mu nsonga.

2 Okukkakkanya situleesi: Omuntu okubeera mu mbeera y’okweraliikirira, okukoowa, okutawaanyizibwa mu bwongo bisobola okukkakkanyizibwa n’okusinda omukwano. Akaboozi kayamba omubiri okusumulula ebirungo ebiwuliza omubiri obulungi ne kiyamba okuggyawo situleesi.

Okunoonyereza kulaga nti okusinda omukwano kukkakkanya abadde yeeraliikiridde okwogerera mu bantu abawerako, ekiwuggwe ne kimuvaamu.

3 Okufuna otulo: Abaagalana bwe bafuna akaboozi ne kababukala bulungi obwongo bukkakkana ne bafuna otulo.

Ate kiyitirira ng’abaagalana batuuse ku ntikko kuba waliwo obusimu obusasaanira omubiri ne gotoowolokoka.

4 Kookolo w’omu busajja; Abasajja batera okufuna kookolo abaleetera okuzibikira mu busajja. Wabula ekimu ku biyamba okukendeeza emikisa gy’okumufuna kwe kusinda omukwano.

Okunoonyereza mu byobulamu kulaga nti omusajja bw’atuuka ku ntikko emirundi 21 mu mwezi nga yeegasse n’omukazi kikendeesa ku mikisa gy’okufuna kookolo w’omu busajja.

5 Amaanyi agalwanyisa endwadde: Abantu abakola akaboozi waakiri emirundi ebiri mu wiiki obwerende bwabwe ku kulwanyisa endwadde bweyongera.

Okusinziira ku katabo ka The New England Journal of Medicine buli lwe mukola akaboozi ekirungo ky’embavu mu baserikale b’omubiri abalwanyisa endwadde kyeyongera, ekibakuuma nga tebalumbibwa nnyo ndwadde.

Kino kitegeeza nga tgemulina ndwadde nga siriimu, ez’obukaba, n’endala ez’omutawaana.

6 Endwadde z’omutima: Abantu abakola akaboozi naddala abasajja waakiri emirundi ebiri mu wiiki, emikisa gy’okufuna endwadde z’omutima gikendeera. Okukola akaboozi kuyamba okukuuma ekirungo kya ‘estrogen’ ne ‘testosterone’ nga byenkana bulungi ekiyamba omutima okubeera obulungi.

7 Kukola nga dduyiro: Okusinda omukwano kulina engeri gye kwongera ku sipiidi y’omutima kwe gukubira, kuleega ebinywa n’okusala ku masavu omuntu n’abeera ng’akola duyiro.

8 Okugumya akawago: Okusinda omukwano naddala mu bakazi kuyamba ebinywa mu kifo awatuula akawago ne kiyamba akawago okukuuma obulungi omusulo.

9 Okuleeta obwagazi: Abaagala gye bakomya okwegatta gye bakomya n’okufuna ekyoyerezi olwo abakyala buli lwe bakirowoozaako batoberera mu mbugo ne lasitiika ne zinaanuuka ekireeta okwagala okwegatta.

10 Okwongera okwagalana. Lutwama agamba nti abaagalana bwe babeera beegatta tewatera kubeerawo kusoowagana era omukwano gwabwe gweyongera okuggumira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi