TOP

Mutaka annemesezza okufuna omukyala

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

OBUSAJJA bunene ddala era buli mukyala gwe neegatta naye tadda era sirina mukyala lwa nsonga eno.

Ssenga 703x422

OBUSAJJA bunene ddala era buli mukyala gwe neegatta naye tadda era sirina mukyala lwa nsonga eno.

Nnina emyaka 30 era njagala kufuna mukyala waakuwasa naye sayizi nnene ddala.

Nkoze ntya? BW’OMANYA nti olina obusajja bunene, olina okubukozesa mu mbeera eya sayizi eyo.

Obukyala obusinga busobola sayizi ennene kubanga omukyala ng’akuze bulungi obukyala bufuna lasitiika ate bw’afuna obwagazi kitegeeza abeera n’amazzi agayamba obusajja okuyingira.

Togeza ne weegatta n’omukyala nga tafunye bwagazi. Era n’omusajja omulala yenna kye yandikoze.

Omusajja olina obuvunaanyizibwa okulaba ng’omukyala omunoonya bulungi afune obwagazi asobole okuleeta amazzi agayamba mu kwegatta.

N’ekirala, abasajja abamu tebamanyi kunoonya ye bw’awulira ng’ayagala kwegatta nga yeegatta ate ng’omukyala mukalu.

Embeera eyo n’omusajja nga mutono afuuka omunene kubanga obukyala buba bukalu. Ekirala olina n’okukyusa mu kwegatta.

Abasajja abamu balowooza nti olina kukozesa maanyi ate n’ogenda wala munda ng’atebw’okoseza amaanyi munno akala n’afuna n’obulumi naddala ng’omumwa gwa nnabaana guli kumpi.

Sayizi tekyuka okugyako ng’ogenze Bulaaya ne bakulongoosa.

Gumira sayizi naye gikozese bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...