TOP

Omusajja yandizadde abaana bameka?

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

Omusajja yandizadde abaana bameka? DDALA omusajja yandibadde n’abaana bameka? Sinnatandika kuzaala naye mpulira abalina abaana bakaaba fiizi n’okubalabirira

Ssenga11 703x422

Kati ddala buli muntu yandibadde n’abaana bameka? NZE sisobola era sirina buyinza kukusalirawo baana b’olina kubeera nabo.

Naye ng’ekituufu kiri nti omulembe gw’okuzaala abaana abangi gulabika nga gwaggwawo. Uganda y’emu ku nsi esinga okuzaala baana abangi.

Kirowoozebwa nti kumpi buli mukyala alina abaana nga mukaaga.

Kino kinene bw’olaba embeera yaffe. Kati bw’olowooza ku mbeera y’emyaka gy’edda, abasajja baazaalanga abaana bangi nga balina ettaka nga n’emmere weeri ate nga n’abaana basomera kumpi bwereere.

Naye kati bw’ozaala abaana abangi, olina okulowooza ku kulya, kwambala, okujjanjaba n’ebirala.

Eng’ombo nti buli mwana n’omukisa gwe erabika tekola kati. Buli maka mulina okuzaala abaana be musobola mu mbeera zonna.

Olina okubeera n’ebiseera ebirabirira abaana.

Ennaku zino abaana abangi bayonoonese kubanga abazadde tebalina budde. Kati oyinza okubeera ne ssente naye ate ng’obudde tolina.

Eby’okumala gazaala tebikola nnaku zino kubanga n’eddwaaliro mw’ozaalira ebizibu bingi, kale okuzaala ennaku zino kwa kwegendereza.

Naye nga omukyala yandibadde tazaala baana basukka mu bataano kubanga bw’asukka abo okuzaala kufuuka kuzibu.

Ekirala abawala abato tebandizadde nga tebanatuusa kuzaala. Kubanga ebitundu by’ekyama oba ebizaala byetaaga okukula okuzaala obulungi.

Naye nga buli muzadde alina okwesalirawo abaana b’asobola. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...