TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2020

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Lv1 703x422

Mutaawe Lwembaawo n’omwagala we, Doreen Nakayondo nga beeraga amapenzi.

BAGAMBA nti , “ Enswa bw’ekyusa amaaso, nga naawe envubo!” Kino abaagalana bangi bakimanyi. Mu mbeera eriwo ensangi zino ey’abantu okusigala mu maka gaabwe, abaagalana bangi eby’okwekubagiza baabisibye ku mpagi, ne banoonya engeri y’okuzza obugga laavu yaabwe.

Edith Mukisa omukugu mu kuteekateeka abafumbo n’okubuulirira abaagalana agamba nti kano ke kaseera abaagalana ke balina okukozesa okuzza omukwano gwabwe obuggya nga bakola ebintu nga bino wammanga ebisobola okubagata n’okubakuumira awamu; 1 Muyambagane ku mirimu.

Ebiseera ebisinga omusajja bw’akomawo awaka atuukira mu kunaaba olwo nga bamujjulira emmere. Olumala bino olwo nga yeesogga obuliri. Bangi tebafaayo kumanya munne bw’amazeeko olunaku.

Naye nga buli omu bw’ali awaka, tewali kigaana taata w’abaana kukwata ku lweyo n’alongoosa mu nnyumba nga munne bw’afumba oba okunaaza abaana nga munne bw’ayoza engoye. Bwe munaakolera awamu mujja kwanguyirwa era buli omu afune obudde obuwummulako. 2 Mukole enteekateeka y’amaka gammwe.

Muteese bye mwagala okukola na ddi lwe mwagala okubikola. Obutateesa ebiseera ebisinga bwe buvaako buli omu okukola ebibye, so nga mu nkola entuufu etwala amaka mu maaso.

Abaagalana buli omu yandibadde amanya ebiruubirirwa by’amaka gammwe. 3 Mwogere ku bibasanyusa n’ebibanyiiza. Kano ke kaseera abaagalana ke bandikozesezza buli omu okweyabiza munne, olw’ebyo by’akola ebitamusanyusa n’ebyo by’asiima. Bwe mubaawo n’ebibadde bitatambula bulungi mu mukwano gwammwe mubyogereko, era musalire wamu amagezi.

Wabula mufube okulaba nti mu bye mwogera ate temwongera kussaawo luwonko wakati wammwe.

4 Mukole mwembi dduyiro. Ebiseera ebisinga abasajja bafuna obudde bw’okugendako mu jjiimu ne baleka bakyala baabwe awaka olw’obuvunaanyizibwa bwe babeera nabwo.

Naye mu kiseera kino nga mwembi muli waka, musobola okukyeyambisa nga mukola mwembi dduyiro, era nga muyinza n’okukolera awaka wammwe.

5 Mukoleeyo emizannyo egibagatta. Mu kaseera kano ng’ensi yonna eri waka, muleme kuwuubaala nnyo na kwesiba ku ttivvi ne leediyo. Musobola okussaawo emizannyo egisobola okubakuumira awamu gamba nga Ludo, omweso, Chess, amatatu, omupiira n’emirala.

Gino gijja kubayamba okwekuumira awamu nga munyumirwa, ate nga musobola n’okuyingizaamu abaana bammwe.

6 Munaabeeko mwembi. Ebiseera ebisinga obudde bwebuba bwa kukola kiba kizibu abaagalana okufuna obudde okunaabako mwembi, kuba buli omu abeera akooye. Wabula nga bwe mulina obudde, muyinza okusalawo okunaabako mwembi, kijja kuzza buggya omukwano gwammwe.

7Mukomyewo bye mwakolanga nga mwakalabagana. Emirundi mingi bwe mulwawo nga muli mwembi, bingi bye mwakolanga ebyabasanyusanga mubivaako. Era kino kye kisinga okuleetera omukwano obutanyuma.

Noolwekyo bwe muba musobola muddemu mukole ebyo bye mwakolanga nga mwakalabagana, mujja kulaba nga buli kimu kitambula bulungi. 8 Mwogere ku baana bammwe.

Mu kaseera kano nga muli mwembi, mukakozese okwogera ku baana bammwe naddala ku nneeyisa yaabwe, mu by’ensoma n’obulamu bwabwe. Kino kijja kubayamba okumanya ani yeetaaga okuyambibwa era mumusalire amagezi.

Bwe muba mulina bye mwagala okubategekera ky’ekiseera okubyogerako era mubikkaanyeeko   

 Tukubye pulaani y’okutambuzaamu obulamu bwaffe

 ROSALINDA Nayiga ow’e Lungujja agamba nti mu kaseera kano asobodde okutuula n’omwami we, Henry Moses Kawooya ne bakuba pulaani y’okutambuzaamu obulamu bwabwe n’amaka gaabwe. “Oluva mu mbeera eno tugenda kusookera ku kyakuggulawo akawunti yaffe tweyongere okutereka ssente.

Ekirala mu kiseera kino nga buli omu alina obudde, emirimu gy’awaka tugigabana bulungi awatali kukaayana era tugikola mu kwagala okungi. Nkakasa nti embeera eno w’eneggweerako nga waliwo ekyeyongedde ku mukwano gwaffe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....