TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2020

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lwe11 703x422

NOAH Yiga Kasozi Lwembawo

KU dduuka we ngula muwogo we nasanze muliraanwa wange Jose gwe mbadde mmaze ebbanga nga siraba, anti ewuwe abadde afuluma na bunyonyi ate n’ayingira matumbibudde.

Bwe namaze okugula muwogo kwe kumugamba tudde awaka, wabula yanzizeemu nti, “Musajjawattu ndeka, kangira mbeerako wano naye awaka wagaanyi!” Namubuuziza obuzibu we buva era teyasibyemu n’aηηamba nti, “Okuva embeera eno bwe yatandika ndi ku nkato.

Obudde olwakedde, nabadde nkyali mu kisenge ndowooza ku ngeri gye naatambuzaamu olunaku, maama w’abaana n’angobayo nti ye ayagala kulongoosa kisenge kye. Nagenze mu ddiiro wabula oluvannyuma lw’eddakiika 10 nayo n’angobayo nti ayagala kulitegeka. Nafulumye ne ntuula ku kabalaza, nawo n’angobawo nti ayagala kulongoosaawo.

Nabadde nzira mu nnyumba n’aηηaana nti tennakala, kwe kusalawo nzije wano ku dduuka ntwalirize obudde. Kyokka ate bwe yalabye nga ηηenda kwe kumpereekereza ebigambo nti, “Ye kati olaga wa gwe anaatuletera ebirwadde byo!” Embeera Jose gy’ayitamu abasajja bangi gye balimu.

Edith Mukisa, abuulirira abafumbo agamba nti abasajja bangi ennaku zokka ze baakatambuzaako bali ku mpiso olw’ebibasoomooza. 1Obuzibu mu kisenge. Waliwo abasajja ababadde baayawukana edda mu kwegatta ne bakyala baabwe nga balina abakazi abalala be beegatta nabo, kyokka nga mu kiseera kino tebayinza kubatuukako. Abalala, amaanyi tebakyagafuna olw’ebirowoozo.

Kyokka ekyakabi nti abakyala abamu tebasobola kukitegeera nti omusajja asobola okulemwa okwegatta olw’ebirowoozo ne batandika okubateeka ku puleesa okwegatta nabo. 2 Puleesa ya ssente. Embeera y’okusaasaanya awaka yeeyongedde abakyala n’abaana basaba kino basaba kiri, balandiroodi babanja kyokka bino byonna bigenda mu maaso ng’abasajja tebakola.

Embeera eno bw’ebaawo ng’omukyala ategeera kiba kyangu, naye bw’aba tabitegeera, omusajja akuluubizibwa nnyo.

3 Okulaba ebipya. Abasajja bangi ng’abadde talabanga ludda lukyamu olw’abantu b’awaka kuba tabeerawo, wabula mu mbeera eno ayinza okwesanga nga buli ky’alaba kimunyiiza.

Abasajja abamu kino kye kiseera w’ajja okutegeerera nti abaana be tebalina mpisa, ekiyinza okumukuba ewala! 4 Embeera y’okulya ebitawooma.

Abasajja abasinga ku mirimu gye bakola balya byonna bye baagala. Kizibu okusanga omusajja asabye mukene mu wooteeri oba ebinyeebwa. Emirundi egisinga balya nnyama, nkoko oba byennyanja.

Wabula mu mbeera eno nga bali awaka n’abantu baabwe, bangi bajja kwesanga nga balya bijanjaalo, binyeebwa, mukene ssako emmere gye batayagala.

5 Olutalo lw’okuteekawo okwagalwa kw’abaana. Abakyala abamu bassaamu abaana baabwe endowooza nti kitaabwe tabafaako era tabaagala. Mu mbeera eno omusajja ajja kusanga obuzibu okusiiba n’abaana bano awaka ng’amanyi engeri gye bamulowoozaako, wadde nga teba ntuufu. 6 Olutalo lwa ttivvi.

Abasajja abasinga babadde ttivvi baagirekera b’awaka era nga nabo baakimanyiira, wabula kati beesanze nga balina okukaayanira limooti n’abawaka kubanga naye alina ebibye by’ayagala okulaba. 7Okuyomba kw’abakyala. Waliwo abakyala nga bayombi era nga n’abasajja baabwe baabamanyiira ne basalawo okumalanga obudde bwabwe obusinga ku mirimu. Kati mu kiseera kino, byakyuse, bali waka embeera yabasusseeko olw’omukyala okuyombera buli kimu. 8Abasajja tebakyalina kyama.

Abasajja bangi baagala nnyo okukola ebintu byabwe mu kyama kyokka kati bino byaweddewo kubanga essimu ezikubwa awaka zirumikibwa.

Ekyakabi nti n’ezimu za mirimu kyokka ng’obuggya bwe butabulawo abakyala bazirumika ekimazeeko abasajja emirembe. 9Abasajja abalina amaka agasukka mu gamu bali ku bunkenke bungi.

Mu mbeera eno ng’omusajja tasobola kubeera mu maka ag’emirundi ebiri ne bw’aba alina obusobozi talina bwanaakikola, okuggyako ng’alina ekipapula ekimukkiriza okuvuga emmotoka. Bw’agenda awalala, gy’avudde bamugamba nti abanonedde Corona, ate ne gy’agenze kyangu okumugobaganya nga bagamba abaleetedde Corona.

Kino kitegeeza nti alina okusalawo awamu w’abeera ekiyinza okumubeerera ekizibu, kubanga wonna abeera ayagala okubeerayo n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

10 Eηηambo. Abasajja bangi tebakolagana na ηηambo era babadde tebabiyingiramu olw’okuba tebabeera waka. Naye mu mbeera eno nga tebalina gye balaga, beesanga bawuliriza eηηambo ezitabayamba.

Wabula Mukisa agamba nti abakyala kirun- gi bakozese ekiseera kino okubudaabuda abaami baabwe baleme kukaluubirizibwa olw’okubeera awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....