TOP

Eyannemesa omulimu takyandabawo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2020

Eyannemesa omulimu takyandabawo

Top1 703x422

OMUSAJJA eyansuuza omulimu gwange olumaze okunzaalamu n’angoba. Nze Hasfah Namulondo 19, mbeera Kisaasi - Komamboga. Mmaze ebbanga nga nkola ku ddipo ya sooda ne b biya e Kiraka Omulimu gwange gubadde gumpa emirembe era gubadde gundabirira bulungi nga sijula, wabula bwe nafuna omusajja eyansuubiza okumpasa, omulimu ne nguleka.

Omusajja ono muserikale wa poliisi ng’okumpangula yayita mu bukodyo bungi omwali n’okunsuubiza ebirungi bye siyinza kukutendera. E Kireka gye nali nkolera nasuulanga mu kifo we nali nkolera naye bwe yansuubiza okumpasa n’atwala mu maka ge, nalaba ng’ekirooto kyange kituukiridde eky’okubeera n’amaka agange. Era nalaba ng’eby’omulimu tebikyagasa kwe kuguleka.

Embeera ze mu kusooka zaali nnungi nga sirina buzibu bwonna. Wabula bwe namala ebbanga mu maka ge n’alyoka anzigyirayo obuyisa bwe bwonna. Omusajja ono yantamya abasajja bonna era okuddamu okunoonya omusajja okufumbirwa kijja kuba kizibu. Omusajja ono yampisa mu nnaku gye sirabangako.

Natuuka okuzaala nga sirina bintu, n’okuntwala mu ddwaaliro yagaana era baliraanwa abatali mu nsonga zaffe be bansondera ssente z’eddwaaliro.

Okuzaala olwaggwa yatandika okungobaganya muviire nga nkyali nnakawere nga n’ekirira kya bbebi tekinnakala. Nalaba siisobole, ne nsalawo okumwetegula ne hhenda mu kyalo ewaffe e Iganga. Mu kyalo nayo omwana yannemesaayo olw’okukaabanga buli kadde, kubanga namutwala tannatuumwa linnya.

Bazadde bange bantegeeza nti omwana okufuna emirembe nga mmututte ewa kitaawe amutuume erinnya nti kye kyali kimukaabya. Bwe nakomawo e Kampala omusajja yalinga gwe batanudde.

Nasanga yawasa ng’embeera ze zaakyuka. Bwe namusabanga emmere ng’antegeeza nti tasobola kugimpa kubanga mu mutima gwe yanzigyamu. Namwekubako ne mubuuza ekyamutabula wabula nga tewali ky’ahhamba.

Nalaba siibisobole kwe kumwesonyiwa, wabula neevuma olunaku lwe namusisinkana. Wadde yannemesa omulimu gwange naye nsinga kukaabira ebiseera byange eby’omu maaso bye yayonoona n’okunzaalamu omwana kyokka nga tanjagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...