TOP

Tuzudde omugagga Ssemwanga gy’azaalwa

By Musasi Wa

Added 6th January 2013

DDALA enkuba teyaza kyayo. Omugagga Ivan Ssemwanga, ayiwaayiwa ssente mu Kampala, tuzudde gy’asibuka ne twogerako n’abantu.

2013 1largeimg206 jan 2013 142049550 703x422

Bya SAUL WOKULIRA NE ANTHONY SSEMPEREZA

DDALA enkuba teyaza kyayo. Omugagga Ivan Ssemwanga, ayiwaayiwa ssente mu Kampala, tuzudde gy’asibuka ne twogerako n’abantu.

Ssemwanga mutabani w’omugenzi George Ssemwanga Pinto Lutaaya ate nnyina abatuuze bamumanyiiko lya Liize nga naye mugenzi; ono muwala wa Haji Hamis Mukasa era nga Ssemwanga nzaalwa ku kyalo ky’e Nakaliro ekisangibwa mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga.

Ku kyalo kino Ssemwanga kw’akulidde okutuusa lw’avuddeko n’agenda okukuba ekyeyo mu South Afrika nga yaakavubuka.

Awaka waabwe tewakyali muntu waaluganda lwe yenna okuggyako abapakasi abakuuma. Ssemwanga lw’aba azzeeko awaka, ajja lu¬wunguko tasulayo n’addayo e Kampala.

Abatuuze b’oku kyalo boogedde ku mugagga ono, Ivan Ssemwanga eyegulidde er¬innya mu kuyiwaayiwa ssente ne bagamba nti bino abikola mu Kampala kyokka ku kitundu gy’azaalibwa tewali kye bamwenyumirizaamu.

Abatuuze bagamba nti okuva Ssemwanga lwe yabuuka n’agenda e South Afrika, mu Kayunga akomawo nga bafunye ebizibu ewaabwe n’okusinga mu kufiirwa n’ennyimbe. “Olaba ne ku nnaku enkulu tajja tumuwulira buwulizi mu Kampala ne by’akolayo!”

“Ku ssente zonna Ssemwanga z’asaasaanya n’aba nga mu Kayunga mw’azaalibwa talinaamu wadde poloti oba pulojekiti ekulaaku¬lanya ekitundu, ffe ab’e Kayunga tetulina kye tumwenyumirizaamu,” Lamech Mulindwa omu ku baliraanwa ba Bassemwanga bwe yategeezezza.

Amaka ga bazadde ba Ssemwanga agasangibwa e Kayunga, ekif; Saul Wokulira. 

Mulindwa yagambye nti okumpi n’amaka ga Bassemwanga e Nakaliro, baatandikawo ettendekero ly’abasawo ng’omu ku kaweefube ow’okuyamba abaana b’oku kitundu okusoma kyokka Ssemwanga yatuukirirwa n’agaana okujja kubayambako.

Abatuuze bagamba nti Ssemwanga okuva edda nga muvubuka mucakaze era n’abavubuka b’e Kayunga abatera okugenda e South Afrika ky’abakolera kubatwala mu birabo n’abagulira omwenge.

“Bw’ajja ewaabwe mu kufiirwa oba mu kwabya ennyimbe aleeta loole y’omwenge abantu ne banywa ne bagangayira era kino kyokka kye bamubalako mpozzi n’abatono abamutuukirira atera okubawaayo 20,000/-,” Edward Mukasa omu ku mikwano gy’omugagga Ssemwanga bwe yategeezezza.

Ivan Ssemwanga ng'atudde ku mmotoka y'ekika kya Lamborghini. Ekif: Martin Ndijjo.

Abatuuze bagamba nti nabo ng’abaakula n’omugagga Ssemwanga bandimusuubidde okutandikawo pulojekiti ez’okwekulaakulanya nga ez’obulimi oba okuwagira ettendekero ly’abasawo ab’e Nakaliro lye baatandika erya Kayunga School of Nursing and Mid- Wifely.

Ebikwata ku Ssemwanga
Ssemwanga y’omu ku bagagga ab’amaanyi mu ggwanga era yatuusizza emmotoka ey’ekika kya Lamborghini gye yaguze ensimbi ezisoba mu kawumbi eno nga y’esookedde ddala mu Uganda. Era yakutte ebyana biwala ebisoba mu 1000 ku bizinga n’abissa ama¬sanyu

 

Tuzudde omugagga Ssemwanga gy’azaalwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...