TOP

Paasita Bugembe ennyambala y’Abawalabu emukutte omubabiro

By Musasi Wa

Added 31st March 2013

EKKANISA y’omusumba Wilson Bugembe etegese olunaku lw’ebyobuwangwa abagoberezi be ne boolesa emisono.

2013 3largeimg231 mar 2013 121321130 703x422

 

 

 Pasita Bugembe ng'anekaanekanye mu kyambalo ky'Abawalabu.

Bya Rogers Kibirige

EKKANISA y’omusumba Wilson Bugembe etegese olunaku lw’ebyobuwangwa abagoberezi be ne boolesa emisono.

Olunaku luno olwategekeddwa Ssande ewedde lwatuumiddwa ‘Cultural Sunday’ era lwabadde ku kkanisa ya Light the World Church esangibwa e Nansana.

 

Omusumba Bugembe yayambadde ennyambala ya Kiwalabu okwabadde ekkanzu n’asiba ekitambaala ku mutwe n’akisibisa omuyondo era nga mwe yabuuliridde ekigambo kya Katonda.

Ebyambalo bino mu njogera ennyangu oyinza okubiyita eby’Abawalabu. Bugembe agamba kye yayambadde kyamuweebwa nga kirabo e Dubai gye yali agenze okubuulira enjiri, nti era e Dubai Omusiraamu n’atali ayambala ekyo ekyambalo.

 

Abagoberezi b’ekkanisa eno buli omu yayambadde omusono gw’olugoye lw’eggwanga ly’ayagala ng’abamu baayambadde busuuti n’ekkanzu abalala mbugo ne bakwatirako akambe k’omukazi Omuganda n’obusawo obwalukiddwa mu buso ssaako n’omuge gw’ensimbi Eng’anda.

Waliwo abaayambadde emishanana egy’Abanyankole n’Abanyarwanda ate abamu ku basajja ne beesuulira ebikooyi.

 

Abakkiriza nga balaga ennyambala y’ekinnansi.

Paasita Bugembe yayambadde Kiwalabu, Ebifaananyi byonna bya Rogers Kibirige.

Paasita Bugembe ennyambala y’Abawalabu emukutte omubabiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...