TOP

Lutaaya azimbidde Irene kalina ya bukadde 600

By Musasi Wa

Added 19th July 2013

Ennyumba eno agizimbye Munyonyo okuliraana wooteeri ya Sudhir eya Speke Resort era nga yagibaliriddemu obukadde 600 nga totaddeeko zaagula poloti kw’agizimbye.

2013 7largeimg219 jul 2013 084938090 703x422


 

 

 

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

  • Lutaaya azimbidde Irene kalina ya bukadde 600
  • Lutaaya azimbidde Irene kalina ya bisenge 10


Ennyumba eno agizimbye Munyonyo okuliraana wooteeri ya Sudhir eya Speke Resort era nga yagibaliriddemu obukadde 600 nga totaddeeko zaagula poloti kw’agizimbye.

Lutaaya agamba nti poloti teno yagigula obukadde 300 era nti kino akikoze ku lwa mukyala we eyamwanjula mu bazadde mu 2010 n’abaana baabwe.

Kalina ya Balutaaya.

Ennyumba eno amatiribona ya kalina, erimu ebisenge 10 ebisulwamu okuli eky’abakulu, eby’abagenyi n’eby’abaana.

Buli kisenge kirimu ekinaabiro ne kaabuyonjo, woduloopu w’ossa engoye n’engeri y’akasitoowa w’oteeka ebintu.

Ekisenge ky’abakulu ekinene ddala kirimu ebisenge ebirala omuli ekiterekebwamu engoye, ekiterekebwamu engatto n’ekinaabiro ekirimu engoye z’omu kinaabiro ne kalonda akozesebwa mu kunaaba n’okwerongoosa.

Ekitundu ky’ekinaabiro kyabwe nga bwe kifaanana.

Waggulu ne wansi waliyo amadiiro g’abagenyi n’agaliirwamu emmere, era waggulu gye bakyaliza abagenyi baabwe ab’omunda.

Bino we bijjidde nga ssenga wa Namatovu eyategerekeseeko erya Nansamba, amubanja embaga Lutaaya gye yasuubiza mu November wa 2010 lwe yamwanjula.

Wabula omugagga Guster Lule Ntakke (mukulu wa Lutaaya) yajjukiza Lutaaya mu kaseera ako n’asaba n’abazadde nti Lutaaya akoze nsobi okwogera atyo kwe kutegeeza nti agenda kusooka kuzimbira mukyala maka alyoke ayogere ku by’embaga.

Irene ne Lutaaya mu kisenge kyabwe.

Mu kiseera ekyo baali bakyapangisa wadde nga Lutaaya yali yazimba dda wooteeri galikwoleka eya Durban e Najjanankumbi.

Wano Lutaaya we yagambira nti embaga agitegese mu November 2011 ng’agamba nti ajja kuba amalirizza okuzimba amaka, wabula n’etebaayo.

Wano ssenga we yasinzidde okuwa Lutaaya nsalessale ku mbaga eno n’amutegeeza nti terina kusukka mwaka guno kubanga bakooye okukandaaliriza omwana waabwe ku mbaga ye kennyini gye yasuubiza.

Kigambibwa nti nnyina wa Lutaaya, Margaret Nambi abeera e Masaka naye amuli bubi ku by’embaga ekolebwe ng’akyaliwo, era yatuuse n’okutema emiti mu luggya okwetegekera embaga ya mutabani we, Geoffrey Lutaaya.

Lutaaya azimbidde Irene kalina ya bukadde 600

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...