TOP

Ziizino goloofa ababaka mwe bawummulira

By Musasi Wa

Added 29th September 2013

BAGAMBA nti akuwa obwami aba akuwadde kulya. Abamu ku babaka olufunye eza palamenti ne baddamu okugugumula zi ggoloofa ne baziteekako n’ebidiba mwe bawugira.

2013 9largeimg229 sep 2013 105107947 703x422BAGAMBA nti akuwa obwami aba akuwadde kulya. Abamu ku babaka olufunye eza palamenti ne baddamu okugugumula zi ggoloofa ne baziteekako n’ebidiba mwe bawugira.

Abamu basulira ddala mu mbiri kw’okomya amaaso, olwafuna ez’emmotoka ne balaba ng’emmotoka ennene tebalina bwe bazisimba ku mizigo ne bagugumula kalian ng’omubaka wa Kalungu West Gonzaga Ssewungu.

Bino okumanya binyuma, olaba ne ‘Da mani’ aludde ng’alaga emizigo gy’amaduuka egiyingiramu amazzi e Wankulukuku kati alina amaka agabuguma!

Bukedde Online agenda kukutuusaako ennyumba z’ababaka ab’enjawulo olondeko esinga.

ROBERT KASULE: Y’akiikirira Kyaddondo North, era kino kisanja kye kyakubiri. Ye yaddira kitaawe omugenzi Kibirige Ssebunnya mu bigere. Amaka ge gali Gombe.

Ennyumba mw’asula yagizimba amaze okugenda mu palamenti. Mu kusooka yali akole mu kitongole ky’eby’amazzi mu ggwanga.

 KEN LUKYAMUZI: Ye mubaka wa Rubaga South. Palamenti yakabeeramu ebisanja bisatu. Mu kusooka yali asula mu nnyumba z’amaduuka e Wankulukuku ng’enkuba bw’etonnya eyingiramu amazzi. Wabula eno yavaayo n’azimba ennyumba ey’omulembe e Kitebi.

GERTRUDE NAKABIRA: Ono ye mubaka w’abakazi e Lwengo. Amaka ge gali Lwengo. Kino kye kisanja kye ekisooka. Ye yali akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Ssembabule.

Amaka gano yaakagazimba kuba yali abeera Kibengi ekiri ku nsalo ya Lwengo ne Ssembabule.

KAFEERO SSEKITOOLEKO: Yakiikirira Nakifuma mu Palamenti era kino kye kisanja kye ekisoose. Amaka ge gali Mayangayanga mu ggombolola y’e Kimmenyedde. 
Nga tannayingira Palamenti yali makanika ng’alina galagi e Nakawa. Ennyumba eno mw’asula agizimbye mu kisanja kino.

Ziizino goloofa ababaka mwe bawummulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...