TOP

Besigye alina ke yeekoledde

By Musasi Wa

Added 12th October 2013

Batugambye nti okusinziira ku pulaani y’ennyumba eno n’obugazi bw’ettaka we yagizimba alinga eyali yeetegekera entebe y’obwa pulezidentiBya Musasi waffe

Omulaba kutambuza bigere nga yeekalakaasa mu bya ‘Walk to work’ naye ggwe amugoberera olina k’okoze?

Ye Dr. Kizza Besigye bba wa Winnie Byanyima alina ke yeekoledde. W’osomera bino ng’amalirizza ggoloofa ye esangibwa ku kyalo Rwakabengo e Rukungiri abamu gye baayise ‘Rwakitura ye’.

Owoolugambo waffe atugambye nti ennyumba eno etemagana nga mukene ng’erimu buli kintu atambula n’omulembe kye yandibadde nakyo yagizimbye ku lusozi waggulu kyokka ng’eri ku yiika eziwera.

Oluggya yalusibye pevazi

Abamu ku banywanyi be baatera okutambula nabo mu kibuga olwatuuse ku ggoloofa eno ne beesika nga balinga abagamba nti ono omusajja bulijjo atutwala mu ttiyaggaasi nga ye yeetegekera dda w’anaawummulira ne famire ye.

Batugambye nti okusinziira ku pulaani y’ennyumba eno n’obugazi bw’ettaka we yagizimba alinga eyali yeetegekera entebe y’obwa pulezidenti. Alina n’amaka amalala e Kasangati.

Besigye alina ke yeekoledde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.