TOP

Dduyiro n’amazzi bye binkuuma ffiga

By Musasi Wa

Added 8th August 2015

LOLAH Adhama y’omu ku bawala b’omu Kampala abalabika obulungi. Akola gwa kwolesa misono era omulimu guno agulinamu obukugu. Yayogedde ne ISMAIL MULANGWA ku bintu bye yeesibako ebimuyambye okulabika obulungi.

2015 8largeimg208 aug 2015 155042233 703x422

LOLAH Adhama y’omu ku bawala b’omu Kampala abalabika obulungi. Akola gwa kwolesa misono era omulimu guno agulinamu obukugu. Yayogedde ne ISMAIL MULANGWA ku bintu bye yeesibako ebimuyambye okulabika obulungi.

“Nnakizuula nti abawala tulinga bimuli, ebisikiriza buli muntu. Eno y’emu ku nsonga lwaki nfuba okulabika obulungi nsobole okuwa abandaba essanyu.

Omukazi okulabika obulungi oluusi tekyetaagisa bintu bingi, wabula olina okweteekamu kaasi amala. Ono y’akuyamba okwetuusaako ebikozesebwa mu kwekolako, nga mu kwambala, ebyokulya, okunywa n’ebirala.

OLUSUSU:
Olususu kye kimu ku bintu ebisinga okunsanyusa n’okunneeyagaza mu bulamu kuba birabika bulungi. Olususu lwange lwa muwendo gyendi kuba lunyirira ate nga luweweevu.

Okulukuumira ku mutindo, ebibala nnabifuula ddagala era mbirya buli kiseera. Nfuba nnyo okulya ebibala omuli emiyembe, meroni, amenvu, ennaanansi n’ebirala.

Ng’oggyeeko ebibala nneesiiga pawuda ne woyiro okukuuma olususu nga lushanana. Kuno kwe ngatta okunywa amazzi agamala. Mu lunaku nnywa liita bbiri ze ndowooza nti zikoze kinene okukuuma olususu nga lunyirira.

Ebiteeteeyi ebimpi bimunyumira

ENGATTO
Ndi mwambazi wa ngatto mpanvu. Zino ziggyayo bulungi endabika yange ate zimpa entambula. Ekirala engatto z’ekika kino teziboola ngoye. Zino oluusi nzigula wano, naye ate oluusi nziragiriza okuva ebweru. Nnina emigogo egisukka mu 35 era nzambala okusinziira ku mukolo, olugoye n’ekifo. Nzigula wakati wa 80,000/-ne 150,000/-.

ENJALA
Zino nzaagala nnyo era nfuba okuzirabirira. Okuzikuuma nzissaamu ssente n’ebiseera. Nzikolako buli wiiki era nsinga kusiiga langi ezikwatagana n’engoye ze nnyambadde.

ENGOYE
Engoye ze nnyambala nzigula emitwalo 100,000/- n’okudda waggulu. Simala gagula buli lugoye lwe nsanze, era we nkwatira ssente okulusasula luteekwa okuba nga lunnyumira era nga lugya mu kiraasi yange.

FFIGA
Ndi muwala wa kigero era nfuba okulaba nga ffiga yange ngikuumira mu mbeera eno. Omubiri gwange tegulina kuyiikayiika kuba omulimu gwange gwetaaga omubiri omugumu era ogunyirira.
Okugukuuma nnyiikira okuwuga, hhenda ku jjiimu emirundi esatu mu wiiki naye bwe mba sigenzeeyo nkolera dduyiro awaka kuba ebikozesebwa mbirina.

 

ENVIIRI:
Zino nfaayo okuzirabirira. Omusono gwe nsinga okwettanira gwa ‘ponny tail’ mpozzi n’okukwata ppaafu. Gino gindabisa bulungi kuba gyerula ffeesi yange n’erabika bulungi. Enviiri nzikyusa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.
Mpozzi n’ekisembayo buli lwe mba nfuluma ennyumba ntwala eddakiika 15 nga njooyoota ffeesi nga nkozesa ebintu ebituufu.

 

Dduyiro n’amazzi bye binkuuma ffiga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...