TOP

Emiguwa eminene gimpa emirembe

By Musasi Wa

Added 15th August 2015

POSHA Bonnie Tukundane muwala muyimbi. Alina ennyimba nga Ondingisa, Dancing party n’endala. Abamugoberera naddala ku Facebook batera okumubuuza ebibuuzo ebikwata ku ngeri gye yeerabirira olwo nabo basobole okwekuumira ku mulembe nga ye.

2015 8largeimg215 aug 2015 142432150 703x422

POSHA Bonnie Tukundane muwala muyimbi. Alina ennyimba nga Ondingisa, Dancing party n’endala. Abamugoberera naddala ku Facebook batera okumubuuza ebibuuzo ebikwata ku ngeri gye yeerabirira olwo nabo basobole okwekuumira ku mulembe nga ye.

Abantu b’e Ntinda gy’abeera baamukazaako lya ‘Mmunyeenye’ olw’okwambala n’anyuma. Yabuulidde RONNIE MARK KIYINGI ebimu ku bimuyamba okukuba abalabi

By’oyambala bikutuuka? Waliwo abantu abagula engoye nga tebasoose kuzeegezaamu kyokka bw’atuuka awaka n’akizuula nti terumutuuka bulungi era amaliriza alwambaliddewo.Olugoye lukebere mu kiwato, ku mikono, ekitoji, obuwanvu n’obugazi nga tonnalugula.

OLUSUSU
Bw’oba mweru nga nze oba okusingawo, weewale ekintu kyonna ekikoona ku lususu lwo kubanga kigenda kirabika mangu. Ne bw’oba n’akatulututtu n’okatakula kaddugala n’ofuna enkovu.
Ekirala, bw’oba weesiiga ebizigo beera mwegendereza bireme kukoona ku maaso ne ku mimwa kubanga mubaamu ekirungo ekibikosa.

ENGOYE
Ntera kwambala buteeteeyi ate sitera kwambalirako kakooti era oluusi n’ebyomu bulago mbireka. Waliwo abamu b’olaba nga beetimbye kumpi kufaananako ng’omutembeeyi ekintu kye ndowooza nti kyadiba dda.

Wano ng’emiguwa agitadde giyitemu empewo

ENGATTO
Singa engatto eba tempa mirembe kale ne bw’eba nnungi sigyambala. Ky’ova olaba njagala nnyo ezo ezinywera mu bigere ate nga ngumu bulungi. Gwe alina enkola ey’okugula engatto enfunda ng’ozisuubira okugaziwa mpolampola, oli ku bikadde.

ENVIIRI
Sitayiro eri ku mulembe gye nsiba era oluusi omusibi w’enviiri mu saluuni bw’aba tagimanyi mmunnyonnyola agitegeeere oba afune ekifaananyi kyennyini kye njagala. Oluusi nkozesa essimu yange ne nkuba ekifaananyi ky’omuntu asibye sitayiro ennyumidde.

Ennaku zino omusono gwa ‘braids’ omunene nga muwanvu gwe nsiba kuba ziwa emirembe, ate nga tezireeta nnyo bbugumu nga bwe kiba ku mitono.
Braids ow’amabanga yoomu ku sitayiro kati eziriko newankubadde abamu tebanaba kubuuka, era webanategeerera ate olwo nga nze ngenze ku sitayiro ndala.

Emiguwa emiwanvu gyanguwa okusiba
EDITH Nakazibwe owa Jane Beauty Salon e Makindye agamba nti kibadde kimanyiddwa nti okusiba enviiri ekika kya ‘braids’ ne zinyuma oteekeddwa okuzifuutiika naddala mu maaso kye bayita ‘packing’ mu lulimi lwa saluuni.

Wabula ennaku zino waliwo sitayiro ey’okuziteekamu amabanga ate gwosibye n’anyuma. Nakazibwe ayongerako nti sitayiro eno yaliwo edda wabula nga kati ekomyewo nga ekyusiddwaamu.

Ebiteeteeyi ebimpi bimunyumira

Tolina kuzisibira ku lususu kwennyini nga bwe kitera okubeera ku ‘braids’ eza bulijjo. Bw’oba otandika okugusiba osooka kugyetoolooza olwo otandike okuluka emiguwa mu ngeri ya kanassatu.

Wabula nga tonnasiba musono guno, Nakazibwe agamba nti sooka okakase ng’enviiri zo tezimeze nnyo (growth) kubanga bwe ziba zimeze zisituka mangu ku mutwe.

Agamba nti ekirala ‘kimererezi w’enviiri’ oba ayitibwa ‘growth’ abeera mukalubo okusibirako emiguwa ekireetera omusibi okulwawo.

Ekirala omusono guno tegunyumira nnyo bamitwe mitono kubanga emiguwa gye gikoma okuba emitono mu muwendo naawe tonyuma.

Ebiviiri bya ‘Abuja’ ne ‘Ganda’ bye bisinga okukola emiguwa emirungi. Wabula ebiviiri bino birina okuba ebiwanvu ekimala kuba tegyetaaga kuyungako, sso ng’emimpi teginyuma.

 

 

Emiguwa eminene gimpa emirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...