TOP

Manya enkozesa y'emisipi gy'abakyala otambula n'omulembe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2016

Omusipi gulina okukwatagana ne by’oba oyambadde

Tab2 703x422

Ridah ng’alaga emisipi gy’atera okwesiba.

RIDAH Ellahi abeera Kiwatule y’omu ku basinga okwettanira emisipi, okusobola okulabika obulungi n’okwekuumira ku mulembe.

Ayogedde ku ngeri emisipi bw’agikozesaamu okwongera okwaka bwati; Emisipi okutwaliza awamu nagizuulamu ekyama kuba bwe nneesiba ginyumira ate ginnyamba okugyayo ffi ga yange olw’ensonga nti gubeera gunkutte bulungi.

Okusinga nkozesa misipi minene egyakazibwako njalayagwa olw’ensonga nti bwe ngyesiba ginnyamba okukendula ekiwato, okukuuma n’olubuto lwange nga luli wamu. Emisipi emitono okusinga njambalira ku mpale naddala ezirina obukondo nga waggulu mbyambaliddeko bbulawuzi.

 Simala geesiba musipi ku buli kye nsanze. Nsooka kumanya oba gusobola bulungi okukwatagana n’ebintu ebitali bimu bye mbeera nnyambadde omuli olugoye, engatto, ensawo n’ebirala.

Omusipi omunene okusinga gunyumira ku kiteeteeyi naddala ekimpi nga kyetooloovu era bwe ngwesiba mbeera nneewulira nga nnyumye ate guvaayo bulungi. Langi y’olugoye nayo nsonga nkulu ku musipi gwe mba ηηenda okukozesa kuba langi ezimu ziboola ne kivaako obutakwatagana.

Okugeza langi enzirugavu ne kakobe tezitera kuboola langi ya ngoye. Emisipi nneesiba emipya n’egy’emivumba kasita gibeera nga gisobola okunkolera kye njagala. Emisipi gigulwa okuva ku 10,000/- n’okweyongerayo waggulu okusinziira ku kika ky’omusipi kuba waliwo egikolebwa mu maliba, engoye n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...