TOP

Baleese emisipi egisibibwa abakyala ab’embuto ennene

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2016

Emimisipi ky'ekiu ku bintu ebinyumisa engoye

Mis2 703x422

Kiwanuka ng’alaga emisipi gy’atunda.

EMISIPI kye kimu ku biyamba okufuula olugoye olw’omuwendo, n’okuggyayo endabika yaalwo. John Bosco Kiwanuka omusuubuzi w’emisipi n’engoye z’abakyala okuva e China, agamba nti emisipi ennaku zino gyongeddwaako amatiribona ebisikiriza omuguzi.

Abakugu baleese omusipi ogwakazibwaako erya ‘metallic belt’ ogukutte abakyala omubabiro. Omusipi guno gukolebwa mu kyuma mu sayizi ez’enjawulo omuli ogwesibwa abakyala ab’embuto ennene n’abatono. Ng’oggyeeko okubeera nga gikoleddwa mu kyuma, gibeera mu langi ez’enjawulo ezirabika nga zisikiriza omulabi omuli eya zzaabu, ffeeza n’endala.

Langi zino ziyamba kinene naddala ssinga omukyala abeera ayambadde olugoye kwe gugendera ne kiyamba omukyala okunyuma n’ebirala. Emisipi egy’engeri eno gikolebwa mu sayizi ezitali zimu okusinziira ku ndabika y’omukyala kuba giboola.

Okugeza omukyala ow’olubuto oluyiikayiika bw’akozesa omusipi omutono abeera tasobola kunyumira musipi mutono kuba gubeera gugenda kubulira mu lubuto. Ebika by’emisipi ebimu bikolebwa mu lasitiika eziyamba okugikuuma nga ginaanuuka okusinziira ku bwetaavu bw’omukyala.

Ekirungi ekiri ku musipi ogutali gwa kyuma tegutera kukosa agwambadde nga bwe guli ku kyuma. Mu basinze okwettanira emisipi egy’engeri eno mwe muli abayimbi, bannakatemba, abavubuka n’abantu abalala abeekuumira ku mulembe.

Omukyala okunyumira omusipi tekimwetaagisa bintu bingi wabula okulonda omusipi ogugendera ku sayizi ye, olugoye lw’ayambadde, langi n’ebirala. K

iwanuka agattako nti, kikulu nnyo okwambala omusipi okusinziira ku myaka, ekifo ky’ogendamu, omukolo n’ebirala. Olw’ensonga nti guboola nga bw’omala gagwesiba gusobola okukulaga ng’atali wa buvunaanyizibwa. Emisipi naddala egya metallic giri wakati wa 50,000/- ne 80,000

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...