TOP

Byobeera olina okwekkaanya nga tonagula lugoye

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd April 2016

Byobeera olina okwekkaanya nga tonagula lugoye

Gal1 703x422

Omumbejja Nkinzi mu biseera bye eby’eddembe.

“OMUKYALA atambula n’omulembe takka bbeeyi ate naawe amutunulako owulira ng’amaaso ganyumirwa olw’endabika ye”, bwatyo Omumbejja Maimuna Nkinzi bw’agamba.

Nkinzi akolera mu Kampala ng’atunda ngoye n’ebyokwewunda by’abakyala. Yayogedde ne

LAWRENCE KITATTA ku ngeri gy’alondamu by’ayambala, ssaako ebirala ebimukuumira ku mulembe.

Siri mwambazi wa ngoye za bbeeyi ekisusse, naye nga bwe nnyambala abasinga bakkiriza. Sitera kwambala biwanvu okuggyako nga nnyambadde mpale naddala eza jjiini. Engoye zange bwe mba nzironda nfuba okulaba nga ngula olutankwata nnyo mubiri kubanga bwe luyitirira terumpa mirembe.

 ngoye ezikoleddwa mu ddiba lya leather nazo zimukolera Engoye ezikoleddwa mu ddiba lya ‘leather’ nazo zimukolera

 Naye ate mu ngeri y’emu sigula lugoye lunene kubanga teri muntu ayinza kwambala n’anyuma ng’engoye z’ayambadde tezimutuuka. Ate era sirina muze gwa kugula ngoye nnene nga ndowooza nti nnaazifunza kuba mmanyi okwo kuba kwerimba.

We nsasulira ssente okugula olugoye mba mmaze okukakasa nti luntuuka bulungi era nti nja kulwambala. Ebitengi nabyo oluusi mbyambala naddala mu misono egiri ku mulembe.

Langi ezisinga zihhenderako olwa langi yange, ntera kwambala enzirugavu n’enjeru, wabula n’engoye ezirimu ebimuli zindabisa bulungi. Sirina kifo kya nkalakkalira we ngulaNkinzi agattako nti abantu bangi twesanga mu mbeera y’okugula engoye naye bw’olutuusa awaka ne weebuuza nti, “oba nabadde ndowooza ki okulugula?” Oluusi ogula olugoye ng’osikiriziddwa abatunda olwa bbeeyi yaalwo okuba ensaamusamu.

 ikaati ne bbulawuzi bimunyumira Sikaati ne bbulawuzi bimunyumira

 Waliwo abaziyimba nga bakulaga nga bwe luli olw’akabi n’owalirizibwa okulugula oba nga lukulabikidde bulungi olw’engeri gye baluwaniseemu.

Embeera eno esinga kubeera mu bakyala n’abawala. Osanga omukyala ng’alina keesi y’engoye nnamba naye nga ku zonna talina lwe yali ayambaddemu, so nga aba yazigula nga zimusanyusizza.

Okwewala embeera eno, bw’oba tonnagula lugoye sooka weebuuze bino: 1 Ddala nnaalwambala? Oluusi tugula engoye lwa kuba zisaliddwaako ebbeeyi, era kino abazitunda bakikozesa ng’akakodyo.

Okugeza ekiteeteeyi ekigula 100,000/- bayinza okukisala ebbeeyi ne bakitunda 50,000/-. Kino kisikiriza amaaso naye nga tonnaggyayo ssente kugula, sooka weebuuze nti ddala onoolwambala? 2 Nninayo olugoye olulala olulufaanana? Oluusi twesanga nga tuguze engoye ezifaanagana.

Okugeza bw’oba olina sikaati enzirugavu ttaano, ddala weetaaga okugula eyoomukaaga? Wabula olw’okuba abantu bangi bw’asanga olugoye ne lumusanyusa taddamu kulowooza ku z’alina awaka, ayinza okwesanga ng’alina engoye nnyingi eziri mu kikula kye kimu oba mu langi ze zimu. 3 Olugoye luntuuka bulungi?

Togula lugoye n’olowooza nti ate onoolwegerezaamu waka. Weegezeemu era okakase nti lukutuuka bulungi. Togula lunene ng’olowooza nti ojja kulufunza kuba bw’onoolutuusa awaka kijja kukubeerera kizibu okulufunza, era ojja kwesanga nga tolwambadde, so nga lwakumalako ssente.

 4 Owulira bulungi ng’olwambadde? Bw’oba ng’owulira emirembe era nga weewulira nti onyumye, awo gula. Naye bw’oba toluwuliriramu mirembe, totawaana kulugula kubanga tojja kulwambala. 5 Biki bye nnina ebirugenderako. Okugeza bw’oba ogula sikaati, sooka wefumiitirize ku bbulawuzi z’olina olabe eneegigenderako.

Kino kye kimu ne ku bbulawuzi. Togula bbulawuzi nga mu woduloopu yo tolinaamu sikaati, kuba ojja kwesanga nga bbulawuzi ekulemye okwambala. 6 N’ekisinga obukulu, kakasa nti ddala ky’ogula okyagala. Jjukira nti emirundi mingi olaba olugoye n’olwagalirawo.

Wabula kirungi bw’oba tonnalugula osooke weebuuze oba nga ddala olwagalira ddala, olyoke olugule.

EBIRALA EBINYIRIZA NKINZI: Olususu: Luno lunneeyagaza kuba ndi mweru era sitera kukyusakyusa bizigo kuba ntya okulwonoona. Olususu ndukuuma nga luyonjo era nga lulabika bulungi kuba waliyo abantu abalina ensusu ennungi naye nga tebasobola kuzirabirira. Enviiri: Zino nziteekamu ssente eziwerako.

Mu kiseera kino nasibye akaviiri akayitibwa ‘Carol Dreads’ era ennaku zino ke kaliku mulembe. Okukasiba kammazeeko 60,000/-. Enviiri nzikyusa oluvannyuma lwa wiiki ssatu. Ntera okusiba n’obuviiri bwa ‘human’.

 kitengi akyambalidde ku jjiini Ekitengi akyambalidde ku jjiini

 Enjala: Enjala zange zikula mangu ate tezikutuka. Nzitwala mu saluuni buli wiiki ne bazikolako tulitimenti era nga buli wiiki ebigere n’engalo mbimalirako 25,000/- oba 30.000/-. Okuzikuuma obutaguba, sizisiigako cutekisi wa langi nzikivu kuba ayonoona enjala. Ffiga: Ndi mukyala muzadde naye nfuba okukuuma omubiri obutayiika.

Ntera okuwuga, ate bwe nfuna obudde hhendako ne mu jjiimu okwekuumira ku mulembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda