TOP

POLLY NAMAYE: Omupoliisi atambula n’omulembe

By Lawrence Kitatta

Added 2nd May 2016

Olwo omukwano mugutambuza mutya nga taata w’abaana abeera Malaba? Okuva lwe twatandika okukola tetubeerangako mu kifo kimu, naye atulowoozaako era afissa obudde n’ajja ne tusanyuka. Yaakankubira n’ansuubiza okuntwala okucakala tulye ‘ayisikuliimu’ ne ‘cokuleeti’, era mbyesunze.

Pollynamaye1 703x422

Polly Namaye

 

OMUKYALA atambula n’omulembe takoma ku kwezigula na kwambala bulungi kyokka. Kino
kizingiramu enneeyisa ye yonna omuli engeri gy’akolamu emirimu awaka, gy’alabiriramu
ab’omu maka ge, emirimu gy’akola, enkolagana ye n’abantu abalala ne kalonda omulala
mungi.

Noolwekyo, buli Lwamukaaga tugenda kukuleetera abakyala ab’enjawulo nga batulaga engeri gye beerabiriramu, emirimu, amaka n’ebirala ebibakwatako.

POLLY Namaye ye mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga. Bangi abamulaba mu yunifoomu ya poliisi ekyo kye kifaananyi kye batwala.

Mukyala muzadde era afissaawo akaseera akalabirira famire ye, amanyi okulya obulamu n’okwerabirira era mukyala atambula n’omulembe.

Mu bufunze tubuulire Namaye y’ani? Nze Polly Namaye Bagambaki. Ndi mukyala mufumbo wa mpeta, baze ye Alfred Bagambaki, RPC w’e Malaba. Tulina abaana babiri.

Olina emyaka emeka ? Hmm..wali olabyeyo omukazi ayogera emyaka gye? Egyo gyesonyiwe, wabula ky’olina okumanya nti ndi mufumbo era nnina n’abaana babiri.

Emirimu wagitandikira mu poliisi? Okuyingira poliisi nasooka kusomesa kuba nnina diguli mu busomesa. Eno nagisoma kuba baganda bange ne bazadde bange baali banjagaliza kuba musomesa. Naye nze nali njagala kuba mupoliisi era bwe nasaba ne bampa, obusomesa ne mbuvaamu.

amaye ngali ku mulimu Namaye ng'ali ku mulimu

 

Bw’otobeera ku mulimu biki ebikutwalira obudde? Ennaku ze sibeera mu wofiisi ntono nnyo, era ebyo mbimala ne famire yange, mpozzi n’okugendako okucakala, naddala ku mbalama z’ennyanja ne mpuga wamu n’abaana baffe. Oluusi nneenyigira mu mirimu gy’ekitundu mwe nsula naddala lotale, okulaba ku firimu mpozzi n’okusisinkana mikwano gyange ne tunyumyamu. Mu kiseera kino naddayo okusoma diguli eyookubiri mu byamawulire mu yunivasite e Makerere.

Olwo omukwano mugutambuza mutya nga taata w’abaana abeera Malaba? Okuva lwe twatandika okukola tetubeerangako mu kifo kimu, naye atulowoozaako era afissa obudde n’ajja ne tusanyuka. Yaakankubira n’ansuubiza okuntwala okucakala tulye ‘ayisikuliimu’ ne ‘cokuleeti’, era mbyesunze.

Kiki ekisinga okukuwa essanyu? Ekimu ku bisingira ddala okumpa essanyu kwe kulaba abaana bange nga basanyuka n’okuwulira omwami wange ng’ali bulungi. Ekirala gye mirimu gyange okuba nga gitambula bulungi.

Misono ki egikukwata omubabiro? Nnyumirwa nnyo okwambala engoye ezimpa emirembe ne nneetaaya. Ntera okwambala empale empanvu kuba zinnyumira ate nga zimpa emirembe.

Okola ki okwekuuma obutagejja? Wadde ebiseera ebisinga ntambulira mu mmotoka, naye oluusi nfi ssaawo akadde ne ntambula waakiri kirommita emu. Kino kinnyamba okusala amasavu. ηηendako ne mu jjiimu, kwe ngatta okukola dduyiro asala amasavu. Ekirala ndya emmere ya kigero ate njagala nnyo ebibala.

Ng’oggyeeko yunifoomu za poliisi ze babawa, engoye z’oyambala otera kuzigula wa? Engoye zange ezisinga zijjira ku wooda okuva ebweru. Wabula waliwo n’amaduuka amatonotono mu Kampala gye nzigula.

Ani atera okukuguza eby’okwambala? Sylvia Owori y’anguza engoye n’engatto. Engoye zitera kutandikira mu 80,000?- okudda waggulu. Engatto nazo nnina emigogo egiwerako.

Abapoliisi babasasula ssente ntono gwe ezigula engatto ennyingi oziggya wa? Okwambala obulungi oluusi tekitegeeza kuba ba ssente nnyingi, wabula okumanya ebiri ku mulembe n’okussaayo omutima. Ku ezo kwe bampa kwe nfissa ate jjukira ndi mukyala mufumbo.

 amaye mu biseera bye ebyeddembe Namaye mu biseera bye ebyeddembe

 

Obudde bw’okuyooyoota enviiri obufuna? Abapoliisi tulina amateeka agatufuga. Okugeza ku nviiri ne bw’oba osibye za bbeeyi olina okuzizza emabega. Toteekamu langi. Nnina saluuni gye ntera okugenda okunsiba enviiri era ntera kusasula wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okusinziira ku musono. Naye tetukkirizibwa kussaamu sitayiro.

Bintu ki ebitabula mu nsawo yo? Kalifuuwa ayitibwa Chloe gwe neekuba era tava mu nsawo yange. Kuno kwe ngatta akazigo k’emimwa (lip bam), ebizigo, akatambaala n’essimu.

Kiseera ki ky’otoyinza kwerabira mu bulamu bwo? Ennaku kwe nazaalira abaana bange siyinza kuzeerabira. Ekirala buli lwe nfuna ‘ejjinja’ mu mulimu gwange ndutwala nga lwa njawulo nnyo gyendi kuba kino mu bulamu bw’omuserikale kiraga ebibala by’entuuyo ze kuba buli ddaala ly’olinnya osooka kukola nnyo. Olunaku lwe nayingirirako poliisi nga September 01/2007 nalwo lwali lwa njawulo nnyo. Olunaku olulala olw’enjawulo ennyo mu bulamu luno omwami wange ye yalukola era sigenda ku lwerabira. Buli lwe ndulowoozaako ndabira ddala okwagala okuva ku ntobo y’omutima gw’omuntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....