TOP

Wiivu ennyimpi zifa nkomola

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Wiivu ennyimpi zifa nkomola

Wi1 703x422

Donah Mbaziira

ONAH Mbaziira mutuuze w’e Najjanankumbi mu Kampala. Muyimbi mu Kream Production era abangi abamulaba ku siteegi bamukooneramu olw’engeri gy’alabika naddala enviiri, olususu n’ennyambala. Yannyonnyodde RONNIE MARK KIYINGI ebintu by’akola okwekuumira ku mulembe. “Okunoonyereza, okuvumbula, n’okwetegereza ebyo by’okozesa osobole okwongera okubitegeera kye kimu ku bintu ebikolebwa abo abeekuumira ku mulembe.

Waliwo ebintu by’okozesa nga weerabirira naye nga tomanyi maanyi gaabyo oba migaso gyonna gy’osobola okubifunamu. Okugeza, enviiri zange nzifaako nga nsiba emisono egiri ku mulembe. Ebiseera bino, omusono gwa wiivu ennyimpi gwe gumu ku gikutte akati.

Ekirungi kya wiivu z’ekika kino, ziwa emirembe engeri gye zikomolebwa nga ntono ku mutwe. Wiivu ntera kusiba za ‘human’ kubanga tezoonooneka mangu era oyinza okugisiba emirundi egiwera nga bw’ogizzaamu kasita oba ng’ogiterese bulungi. Nnina omukugu wange amanyi okunsiba wiivu ez’ekika kino ne ndabika bulungi.

” WIIVU ENNYIMPI ZISALA EMYAKA

Angella Kaduya omukozi w’enviiri mu Kampala agamba nti buli mukyala eyeekuumira ku mulembe atera okwettanira wiivu kubanga ziyambako okwanguya embeera. Agamba nti ennaku zino bangi bettanidde okusiba wiivu ennyimpi era kati osanga omuntu eyasibanga wiivu empanvu ezikoona ku mugongo nga kati yazivaako asiba nnyimpi.

Wiivu ennyimpi tezeekwata nga bwe kiri ku mpanvu, era nnyangu okulabirira engeri gye ziri ennyangu okusanirira. Wiivu gy’ekoma okwekwata gy’ekoma obutanyuma ate ng’ezimu zitawaanya okutaggulula.

 Olw’okuba wiivu ennyimpi teyeekwata, era tetawaanya kusanirira, osobola okufuluma ennyumba nga tosaniridde kyokka n’eteraga era n’osigala ng’onyumye. Wabula agamba nti wiivu ekika kino okuvaayo, agisibye ateekeddwa okuba ng’amanyi okugikomola. Agamba nti abasibi abasinga wano we basuulira obubonero, kuba wiivu ne bw’eba ya bbeeyi n’ogisiba bulungi, kyokka n’ogikyamya ng’ogikomola kasitoma tayinza kunyuma. Ku birungi bya wiivu ennyimpi, Kaduya agamba nti tetwala ‘sipule’ mungi oba woyiro bw’ogeraageranya n’empanvu, ate nga zisala emyaka.  

 Ebirala ebikuumira Donah ku mulembe   SAAGALA ngoye zimbikka nzenna, waakiri nnyambala sikaati ebikka amaviivi naye ate ng’entumbwe yange erabika. Ky’ova olaba oluusi bwe ngula olugoye oluwanvu ate nsooka kukakasa nti terubikka mikono gyange oba ebibegabega.

Omukazi bwe yeebikka yenna okuva ku bukongovvule okutuuka ku mutwe, nze oluusi mba mmulaba ng’ekitereke oba ekyamaguzi. Kati nze atali mmotoka ya bokisibbode, lwaki mba nnettanira ennyambala gye bayita ey’okubulizaako?

ENGATTO: Saagala ngatto nnyimpi oba ezitalina kakondo kubanga zindeetera okuwulira ng’atalina makulu. Buli lwe nnyambala engatto ensitufu mpulira nga nze ndiwo era mba nnekkiririzaamu ekigenze ewala. OLUSUSU: Amazzi agabuguma galina emigaso ntoko newankubadde abasinga tebagafaako era tebagalowoozaako ng’ekimu ku bintu ebisobola okukyusa endabika yaabwe.

Kyokka ate tegeetaagisa ssente okugafuna kubanga osobola okugeefumbira awaka. Ekyo kimala okukulaga nti buli muntu asobola okwekuumira ku mulembe ng’alabika bulungi ne bw’ataba na ssente.

Bw’oba ovaamu olusu, weemanyiize okunaaba amazzi agabuguma buli lunaku. Ebiseera ebisinga olusu luva ku bucaafu obubeera ku lususu obuva ku ntuuyo oba obutatukula bulungi ng’onaaba. Amazzi gano gayambako okugogola obucaafu okuva ku mubiri.

Wabula ekyo kyokka si kye kivaako olusu newankubadde nga kye kisinga. Embalabe bwe ziba zikutawaanya era amazzi gano gazigoba. Ganaabe mu maaso buli lunaku, ojja kulaba ng’embalabe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10