TOP

Blue tooth: Tekinologiya akutaasa ku banyakula essimu

By Ali Kizza

Added 16th May 2016

LWAKI obeera ku bunkenke okukozesa ssimu yo ng'otambula oba mu mmotoka ne weeraliikirira olw'abayaaye okuginyakula!

Laba 703x422

Omuwala ng’ayogerera ku muzindaalo kyokka ng’essimu tagirina w’ali. Akozesa Bluetooth.

LWAKI obeera ku bunkenke okukozesa ssimu yo ng'otambula oba mu mmotoka ne weeraliikirira olw'abayaaye okuginyakula!

Ye abaffe, okimanyi nti osobola okwerabira ssimu yo awantu naye n'osigala ng'ofuna bulungi amasimu agakukubirwa era n’oyogera n'abakwetaaga naye nga toli nayo?

Ebyo byonna tekinologiya ayitibwa "Bluetooth" soma bbulutuusi abizingira wamu n'abigonjoola.

Ebika by'essimu ezisinga ze tukwata ensangi zino zirina tekinologiya ono naye okumuganyulwamu olina obuuma bw'olina okugula n’ogonza obulamu. Jorhans Junior Kisakye agamba: Bino bye bimu ku by’olina okuba nabyo okuganyulwa mu bbulutuusi.

1 "Sleek Bluetooth Headset;

Buno buzindaalo bwa mu matu obufaanana n’obwo bwe wagulira ku ssimu yo kw’owulirira ennyimba ne leediyo.

Buno tebulina ppini yaakufumita mu ssimu kubanga okubukozesa teweetaaga kumala kubuyunga ku ssimu naye busikira mu mpewo nga bweyambisa tekinologiya wa ssimu yo gwe twogeddeko owa bbulutuusi.

Obuzindaalo buno bucaajingibwa ng'essimu mu masannyalaze era bwe bujjula olwo ng’otandika okubukozesa.

Endagiriro y'okubuyunga ku ssimu efaananako n'eyo gy’okozesa okusindikira munno ekintu nga mweyambisa bbulutuusi.

Bw’omala okuyunga obuzindaalo ku ssimu olwo ng'otandika kuwuliriza nnyimba wabula essimu eba tevaamu ddoboozi naye nga mu buzindaalo owuliriza bulungi.

 

Bw’oba omaze okuyunga ebibiri bino oba tokyetaaga kuggyayo ssimu kuginyiga mu ngalo ng’oyagala okukyusa oluyimba owulirize olulala kubanga obuzindaalo bulina amapeesa agakola kino era ggwe olumala okuyunga ng’essimu yo ossa mu nsawo.

Bwe bakukubira essimu, evugira mu buzindaalo era teweetaaga kuggyayo ssimu wabula onyiga ku mapeesa agali ku buzindaalo n’oyogera n'akukubidde.

Obuzindaalo buno buyamba nnyo okwewala okutambuliza ssimu yo mu ngalo era abayaaye abanyakula amasimu mu kibuga bw’oba na buno oba obabuuse.

Busika okutuukira ddala mu mmita 15. Kino kitegeeza nti ssinga weerabira essimu yo awantu naye ng'obuzindaalo obulina, ofuna bulungi amasimu go nga tokimye ssimu yo w’ogirese.

Bukuuma omuliro wakati w'essaawa 10 ne 12 nga kino kisinziira ku ddoboozi ly’owulirizaamu, bw’otumbula kamala essaawa 10 ate bwe liba wansi kamala 12.

Ate ssinga obukozesa nga bw’oggyako busobola okumalako ennaku ssatu. Bugula wakati wa 50,000/- ne 70,000/- nga zino zisinziira ku buwanvu bw'ebbanga mwe busikira.

2 "Beats Pill":

Guno muzindaalo oguvaamu eddoboozi eryenkana n'eryo ly’owulira mu wuufa gy'olina mu ddiiro lyo eka.

Guba mutono ddala era nga giwundibwa mu ngeri ez’enjawulo omuli emyetooloovu, egya bookisi n’egyakula nga eggi.

Omuzindaalo ekika kino nagwo tegwetaaga kuyunga waya ku ssimu yo, anti era gukozesa tekinologiya wa bbulutuusi.

Okufaananako n'obusoose, nagwo gucaagingibwa era kasita gufuna omuliro ng’oguteekako era weeyambisa bbulutuusi okuguyunga ku ssimu.

 

Kino kasita kiggwa ng'ozannya nnyimba ku ssimu, eddoboozi nga lifulumira mu muzindaalo. Osobola okukyusa n’owuliriza oluyimba lw’oyagala ng'okyusiza ku muzindaalo guno.

Mu ngeri y’emu era osobola okuyunga omuzindaalo guno ku wuufa yo eka n'eba ng’ekolera ku ssimu yo.

Gusika okutuukira ddala ku mmita 15 okuva awali essimu ekitegeeza nti osobola okuva we guli n’obeera mu buwanvu bwa mmita ezo naye n'osigala ng'okozesa essimu yo. Kale bw’oba awaka ng'oli waka wo osobola okubeera mu luggya naye ng’okyusa ebiri ku mizindaalo mu nnyumba nga bw’oyagala.

Emizindaalo gino era girina ebituli eby’enjawulo nga awagenda ‘memory card’ oba ‘flash’ ate nga mitono mu sayizi.

Osobola okutambula nagwo kuba gugya bulungi mu nsawo. Gukuuma omuliro wakati w'essaawa 3 ne 8 nga kino era kisinziira ku ngeri gy'ogukozesa.

Gitundibwa wakati wa 400,000/- ne 500,000/- okusinziira ku buwanvu mwe gisikira n'obunene.

Tegyonoonebwa mazzi ate era tegyatika kubanga girina akabubi ak’akapiira kungulu.

3 Waliwo n'emizindaalo egy'oku matu emirala eminene egikozesa bbulutuusi okuli obuzindaalo obutaliiko waya ng’egimu gibaako ne leediyo eyazimbirwa muli munda.

Wabula bw’oba ogwambadde, essimu ogireka mu nsawo bw'evuga n'onyiga ku bupeesa obuliko olwo n’oyogera n'akukubidde nga tokutte ku ssimu yo.

Gino gigula emitwalo mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera