TOP

Guno ddala mulembe ki?

By Musa Ssemwanga

Added 21st May 2016

ABAVUBUKA oluwummula balutandikidde mu kwesala buwero n’okulonda abayimbi baabwe ababasingidde mu mpaka ezimanyiddwa nga Buzz ezaabadde e Lugogo.

Dala 703x422

Abamu ku bavubuka abeetabye mu mpaka zino nga banekedde.

ABAVUBUKA oluwummula balutandikidde mu kwesala buwero n’okulonda abayimbi baabwe ababasingidde mu mpaka ezimanyiddwa nga Buzz ezaabadde e Lugogo.

Empaka zino ez’abavubuka zitegekebwa buli mwaka okusiima abayimbi, abakozi ba ttivvi ne leediyo, badizayina ne kalonda yenna akwatagana n’ebyamasanyu.

Omuyimbi Winnie Nwagi yazzeemu okuleebya bayimbi banne bwe yawangudde engule y’omuyimbi omupya asinze okucamula abantu.

Abalala abaawangudde kwabaddeko Sheebah Kalungi eyalondeddwa ng’omukyala asinze okukuba abavubuka emiziki. Nga bamaze okusoma erinnya lye, yalinnye ku siteegi ng’ayambadde ekiteeteeyi ekyacamudde abalabi abaamuwereekerezza enduulu n’emizira.

Apass eyayimba ‘Tuli Ku bigere’ Navio (ow’ebitontome), Mun G, Levixone, A-Bryanz, Dj Nimrod, Mc Kats ne Douglas Lwanga be bamu ku basajja abaawangudde engule ez’enjawulo.

Dj Shiru owa Bukedde TV yasiimiddwa nga Dj asinze okutumbula ennyimba z’abayimbi aba wano era vidiyo ya ‘gye nvudde we’ n’eragibwa abavubuka abeetabye ku mukolo guno.

Urban Tv eya Vision Group yalondeddwa nga ttivvi esinze okuyigiriza, okusanyusa n’okugasa obulamu bw’abavubuka mu ggwanga.

bamu ku bavubuka abeetabye mu mpaka zino nga banekedde Abamu ku bavubuka abeetabye mu mpaka zino nga banekedde.

 

 innie wagi ku ddyo ne heebah arungi Winnie Nwagi (ku ddyo) ne Sheebah Karungi.

 

avio nengule ye u ddyo ye  hiry naye eyawangudde engule Navio n'engule ye. Ku ddyo ye DJ Shiry naye eyawangudde engule

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko