TOP

Akeedi z’omu Kampala balonze nnalulungi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

ABA akeedi z’omu Kampala bakoze empaka za nnalulungi ezicamudde abalabi. Abawala bano beegiriisizza ku siteegi ng’abantu bwe babakubira enduulu z'oluleekereeke.

Arcade1 703x422

Catherine Bukirwa (ku ddyo) owa Ppaaka Enkadde Mall, addiriddwa Winnie Nakagulire naye owa Naiga Chambers ate amuddiridde ye Hellen Nanteza n’abalala abeetabye mu mpaka za Miss Akeedi wa Kampala.

Bya PHILLIP KAGGWA

ABA akeedi z’omu Kampala bakoze empaka za nnalulungi ezicamudde abalabi. Abawala bano beegiriisizza ku siteegi ng’abantu bwe babakubira enduulu z'oluleekereeke.

Baayolesezza ennyambala ey'enjawulo omwabadde eya ofi isi, n’obubaga wabula bwe baatuuse ku ya bbiici abalabi yabasaanudde nnyo kuba abawala baabadde bambadde obugoye obulaga ebimu ku bitundu by'emibiri gyabwe ng’ebisambi, embuto n'ebirala.

 onah abudde owa ark kadde all wakati ye yawangudde empaka za iss rcade yaddiriddwa innie akagulire owa aiga hamber ku ddyo ne ajorine wanika okuva mu ark kadde all eyakutte ekyokusatu ano nga bakutte nebirabo bye baawangudde Ronah Nabudde owa Park Nkadde Mall (wakati) ye yawangudde empaka za Miss Arcade, yaddiriddwa Winnie Nakagulire owa Naiga Chamber (ku ddyo) ne Majorine Bwanika okuva mu Park Nkadde Mall eyakutte ekyokusatu. Wano nga bakutte n’ebirabo bye baawangudde.

 

Abayimbi ab'enjawulo omwabadde; Prossy Bukenya, Princess Lillian, Easy Man be bamu ku baasanyusizza abaabaddewo.

Wabula waabaddewo katemba abawala bano bwe baalemeddwa okwanukula ebimu ku bibuuzo ebyababuuziddwa mu Lungereza, abantu ne babalangira nga bwe baalaba embaawo entono.

Ronah Nabudde okuva mu Park Nkadde Mall ye yawangudde empaka zino, yaddiriddwa Winnie Nakagulire okuva mu Naiga Chamber ne Majorine Bwanika naye okuva mu Park Nkadde Mall eyakutte eky'okusatu.

 no omukazi ayambadde siriiti ssonsomola yabadde atuuka mu mpaka za iss rcade ezaabadde ku ew alifornia ar udith linaitwe okuva mu keedi ya alilaaya yomu ku baasanyusizza abalabi mboozi ya olome ennyuvu gisange ku  18Abawanguzi baaweereddwa ebirabo omwabadde obuviiri, ebizigo n'ebirala. Empaka zino zaabadde ku New California Bar ku Lwomukaaga nga zeetabidwaamu abawala mwenda abakolera mu akeedi ez'enjawulo okuva mu Kampala omwabadde; Galilaaya, Naiga Chambers, Mini Price,Grand Corner, Park Nkadde Mall n'endala.

Zeeetabiddwaamu abantu bangi naye ng’okusinga baabadde basuubuzi abakolera mu bizimbe

 udith linaitwe okuva mu keedi ya alilaaya yomu ku baasanyusizza abalabi Judith Alinaitwe okuva mu Akeedi ya Galilaaya y’omu ku baasanyusizza abalabi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso