TOP

'Omuzimbi yansaba nfuke mu musingi ne hhaana, enju yannema okumaliriza'

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2016

Mu 2014 nagula poloti e Wakiso. Nasooka ne nzimbawo ennyumba ya bisenge bisatu ne ngiyingira okwewonya okupangisa.

Saba 703x422

Omusajja ng’asalira enkoko wagenda okuzimba obMsgr. Kanyike utafuna buzibu.

NZE John Mugerwa ow’e Wakiso. Mu 2014 nagula poloti e Wakiso. Nasooka ne nzimbawo ennyumba ya bisenge bisatu ne ngiyingira okwewonya okupangisa.

Oluvannyuma nafuna looni ya bukadde 35 okuzimba ennyumba ennene. Nafuna ekirowoozo ekizimba kalina entonotono era ne ngula ebikozesebwa ebisinga ne tutandika.

Ng’abazimbi basimba empagi eziwanirira kalina, omu yansaba enkoko y’okusalira mu musingi ne mugamba nti ebyo sibikola.

Teyampakanya nnyo nang'amba nti ekyo bwe mba nkigaanyi waakiri mpitewo ekiro nfuke omusulo mu musingi nakyo ne nkigaana. Baasimba empagi ne tuyiwa ne siraabu.

Wano mukwano gwange omukubi wa pulaani we yajjira n’antegeeza nti poloti yange ngizimbyemu bubi nnankubira pulaani entuufu.

Yampa amagezi bwe mba nnina ssente ebyo mbimenyewo ngoberere pulaani entuufu kye nakola.

Wabula tuba twakamaliriza okupangulula emitayimbwa, muganda wange n’afa era emitayimbwa gino, omusenyu n’amayinja bye twatoolako okuzimba entaana.

Endabirwamu ze nali nguze nagenda okuddamu okuzikeberako nga zaayatika dda. Kati waasigalawo tayiro zokka kyokka ennyumba yannema okuddamu okusitula.

Ndi musajja Mukatuliki naye nafunamu ekirowoozo nti ebintu bino birabika bikola era bw’oba otandika okuzimba olina okugisalira oba okukolayo ekintu kyonna okwetaasa ku bantu ababi n’ebizibu ebiyinza okukutuukako n’ennyumba yo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...