OMUKAZI ataanyirire ku mulembe guno yeenenyanga yekka kuba buli lukya, wabaawo omusono omupya oguyingirawo.
Tubadde tukyali ku bubina ne ‘hiipu’ ebikolerere ate ne baleeta obuwale obuwanirira akabina.
Irene Kavule atunda obugoye obw’omunda mu Kampala agamba nti obuwale buno busiba mu kiwato ne bukwata ebisambi okusobola okuwumba ennyama y’olubuto ne mu bisambi n’okuwanika akabina waggulu.
Ani alina okukambala?
Akawale kano kalungi ku mukazi eyaakamala okuzaala kuba kamuyambako okukwata olubuto ne lutalebera.
Ate bw’oba otandise okukogga naddala ng’ova mu bwannakawere, naawe olina okukettanira kubanga omubiri guba gutandise okulebera.
Abantu abanene n’abalina ennyama eyiikayiika nabo beetaaga akawale kano ekibayambako okunyumira engoye.
Ate bw’oba n’olugoye nga terukuyitamu bulungi, naawe osobola okukettanira kuba kakwata ennyama y’olubuto ne mu hiipu oba ebisambi ne birema kusagala.
Akawale kano kasinga kubeera mu langi enzirugavu era ng’osobola okukambalira mu lugoye olwa langi ez’enjawulo.
Abakazi abakuliridde mu myaka nabo bakeetaaga kuba mu kiseera kino, laasitiika z’omubiri ziba zitandise okulebera, bw’okeemanyiiza kiyambako okuwanirira akabinako n’olabika bulungi.
Engeri gy’okambalamu; Kavule annyonnyola nti oyisaamu amagulu olwo ebituli ebibiri ebiriko n’obiteeka ku kabina.
Kasike waggulu kamaleyo olubuto okasibe okusobola okukwata obulungi olubuto ne mu magulu. Kajja kusitula bulungi akabinako waggulu.
Bw’oba okambadde buli lugoye lujja kukunyumira olabike bulungi. Akawale kano oyinza okukafuna okuva ku 40,000/- n’okweyongerayo waggulu okusinziira gy’okaguze.