TOP

Sikaati empanvu gitobeke bw’oti

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2016

Sikaati empanvu gitobeke bw’oti

Yu1 703x422

OMUSONO tegudiba, gweyubula bweyubuzi ne sikaati ezikoma mu ntumbwe zikomyewo. Sikaati zino ziri fasooni ne mu langi ez’enjawulo okugeza; kitaka, kiragala, enzirugavu n’endala nnyingi. Abawala bangi bazettanidde kubanga buli wamu zigenda.

Rose Zalwango atunda engoye mu Kampala agamba nti sikaati eno ekolebwa mu matiiriyo ez’enjawulo okugeza nga ppamba, satini n’endala naye nga nneetoolovu. Wabula bw’oba ng’ogyambadde tolina kwambalirako bbulawuzi nnene kubanga nayo eba nnene ekimala. Agattako nti bbulawuzi olina okugikuba ekikalu faasoni ya sikaati eno esobole okuvaayo obulungi oba olina okwambalirako bbulawuzi ng’etuulako butuuzi.

Ekirala sikaati eno esinga kunnyumirako engatto ng’esituse omuntu ayinza obutategeera faasoni kubanga oba oli wansi. Sikaati eno eri mu ngoye nkadde ne mu mpya era ng’egula 20,000/- n’okudda waggulu. Tinah Nandawula ow’omu Kampala akulaze engeri ennyangu gy’oyambalamu sikaati eno n’onyuma.

EBBEEYI Y’EBYAMBALO

Bbulawuzi eya kyenvu ya 15,000/- n’okudda waggulu Eky’omu bulago ekya 10,000/- Ensawo ennene ya 35,000/- Engatto emmyufu za 40,000/- n’okudda waggulu. Bbulawuzi enzirugavu ya 15,000/- Eky’omu bulago ekiwanvu kya 8000/- Engatto enzirugavu zigula 40,000/- Ensawo ya 10,000/- Akasawo akamyufu ka 15,000/- Engatto y’obukondo ya 30,000/- KU KABAGA Yambalirako bbulawuzi nga ya mikono miwanvu osseeko n’eky’omu bulago ekinenenene, akasawo akatono oyambalireko n’engatto ensitufu obulungi.

KU MULIMU Yambalirako bbulawuzi nga ya mikono mimpimpi, eky’omu bulago nga si kinene nnyo, engatto empanvu okwatireko n’ensawo ennene.

KU WIIKENDI Kuno yambalirako kabbulawuzi nga katuulako butuuzi oba nga kalaga ku lubuto okwatireko n’akasawo akatono aka ‘crossbag’ n’engatto ey’akakondo akatonotono ojja kulabika ng’omukazi atambula n’omulembe. esobole okuvaayo obulungi naye bw’oyambalirako engatto ya wansi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...