TOP

Ebintu 5 ebinaakuyamba okusala amasavu g’olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2017

ABANTU abasala omugejjo bangi bafuna obuzibu bw’okumalako olubuto.

Bellyfatman10090302 703x422

Ayinza okusala amasavu mu bitundu ebirala wabula okumalako olubuto asiitaana, era abamu bibalemera ddala. Bw’oba oyagala kusala lubuto, waliwo ebintu by’olina okussaako amaanyi.

Weemanyiize okulya omugaati ogwa kitaka.

Guno guteekebwamu ekirungo kya ‘zinc’ ne ‘iron’ ebiguyamba okumenyamenyebwa amangu, ekitali ku mugaati ogwa bulijjo omweru. Ekirala gulimu ebigoogwa ebiguyamba era okumenyamenyebwa amangu ne gutetuuma mu lubuto oluusi ekivaamu okukolebwamu amasavu.

Lya enva ez’ensigo naddala ebijanjaalo n’ebinyeebwa.

Bino biyamba naddala mu gugonza olubuto ekiyamba omuntu okufuluma amangu. Okwesiba mu lubuto kamu ku bubonero obukuuma olubuto nga lunene.

 Ekibala kya wootameroni kikulu nnyo ku muntu ayagala okusala olubuto n’okukogga.

Alimu ekirungo kya ‘potassium’ ekiyamba okufulumya amangu amazzi okuva mu mubiri.

Kendeeza ennyama gy’olya kubanga erwawo okumenyamenyebwa ng’eri mu lubuto.

Kola dduyiro asala olubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini