TOP

Engoye okuli ffeesi z’abantu zinkolera ennaku zino

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2017

MERRY Bridget Asiimwe ow’e Sseguku y’omu ku bawala abafuba okwambala ebiri ku mulembe.

Bala 703x422

MERRY Bridget Asiimwe ow’e Sseguku y’omu ku bawala abafuba okwambala ebiri ku mulembe.

Asoma bya misono mu ttendekero erimu mu Kampala kw’agatta okukola mu dduuka eritunda engoye z’abakyala e Nakulabye. Agamba nti omusono gw’engoye eziriko ff eesi z’abantu gwe gumu ku gimukutte omubabiro ensangi zino. Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO n’agattako n’ebintu ebirala by’akola okwekuuma ng’alabika bulungi.

Omusono guno ogw’engoye eziriko ffeesi z’abantu gubaddewo, wabula gye buvuddeko abayiiya b’emisono bazzemu okugukola mu ngoye eziteekebwako ffeesi z’abantu ab’enjawulo.

Ffeesi zino ziteekebwa mu maaso, emabega oba mu mbiriizi.

Ffeesi ezitera okuteekebwako ze za bassereebu mu nsi ez’enjawulo, ssaako badizayina abamanyi eby’emisono. Ffeesi zino zikubibwa ku ngoye ez’enjawulo omuli bbulawuzi, ‘dress shirts’, ebiteeteeyi, sikaati n’emijoozi.

Waliwo n’ezikubwa ku nsawo n’engatto. Engoye ezikubiddwaako ffeesi zigula wakati wa 20,000/- ne 30,000/-. Zisinga kukolebwa mu matiiriyo ya ‘shiffon’ nga zitangaala, wabula waliwo n’ezikolebwa mu matiiriyo enaanuuka.

Asiimwe agamba nti okuva engoye zino bwe zaakomawo atera okuzambala naddala ng’agenda mu bifo ebisanyukirwamu ne mu biseera bye eby’eddembe.

Agamba nti ekimu ku bimwagaza engoye ez’ekika kino ze ffeesi z’abakazi abanyirira era abalungi ezikubwako, era buli lw’azambala awulira nga ddala anyumye;

EBIRALA EBIMUNYIRIZA:

ENVIIRI:

Siteera kusiba nviiri era ebiseera ebisinga ntera okukuuma enviiri zange nga za ‘natural’ kuba zimpa emirembe. Kye nfubako kwe kuziyonja n’okuzirabirira obulungi. Bwemba njagadde okuzisibamu mpozzi ntera kusiba duleedi ennyimpi era zino zimmalako 100,000/-. Enviiri zange nnaziwa olunaku lwa Ssande lwe nzikolako mu ngeri ey’enjawulo ne zirabika bulungi.

ENJALA:

Zino nfaayo okuzikuuma nga nnyonjo era nga zirabika bulungi. Zino nzikolerako ku Gazaland awali omuvubuka aziyooyoota ku 20,000/-. Nzikolako buli luvannyuma lwa wiiki mpozzi lwe sifunye budde sisussa wiiki bbiri era nsiiga langi ezaaka ng’emmyuufu ne ppinki.

OLUSUSU:

Olususu lwange okulukuuma nga lulabika bulungi, okusookera ddala neewala situleesi obutafuukuula lususu lwange naye nga mu byonna sirya nnyo bintu bya masavu obutafuna mbalabe wamu n’okunywa egiraasi y’amazzi agabuguma buli ku makya.

Ekirala nze seesiiga bizigo nga ηηenda kwebaka okuyamba olususu lwange okukola obulungi.

Neewala n’okwesiiga buli kika kya bizigo okuggyako ‘coco butter’ kubanga anyiriza olususu lwange ate n’alukuuma nga luweweera bulungi. Neewala okukombooza buli kika kya bizigo kubanga mmanyi nti byonoona olususu.

FFIGA

Ffiga yange Katonda gye yampa nfuba okugikuuma nga nkola dduyiro.

Ate oluusi ntambula ku ηηendo empanvu bwe mbaako gye ndaga ne sirinnyawo mmotoka oba bodaboda. Nnayiga n’okuliira mu biseera ebituufu, era bwe zisukka essaawa 4:00 ez’ekiro siddamu kulya mmere okwewala omugejjo.

ENGATTO:

Ntera kwambala engatto za fulaati n’obukondo obutali buwanvu nnyo, kubanga ze zimpa emirembe nga ntambula, n’obutakaalukanya ntumbwe yange kukogga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini