TOP

Afro- Asian Kaftan’ zettaniddwa abambazi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2017

Afro- Asian Kaftan’ zettaniddwa abambazi

Tamb1 703x422

ABAWALA n’abakyala abatambula n’omulembe bettanidde omusono gwa ‘Kaftan’ wabula ensangi zino ekika kya ‘Afro-Asian Kaftan’ kye kiriko.

Fatumah Asha omukugu mu kutunga n’okwambaza abantu asangibwa e Kabalagala agamba nti ‘Afro- Asian Kaftan’ zitungibwa wano nga bagatta matiiriyo ya ‘Chiffon’ eggyibwa mu Asia ne bagattako ekitegi oba olugoye olulala olulaga obuwangwa bwa Africa.

Agamba nti yatandika okutunga omusono guno kubanga yalaba ng’abantu bettanira omusono guno, wabula ng’engoye zino okusinga zitungibwaako amayinja agamasamasa.

Mu kwagala okukyusaamu n’okwawukana ku ngoye za ‘Kaftan’ eziva emweru kwe kusalawo okutungirako matiiriyo y’ekitengi, okuzifuula ez’enjawulo. ‘Afro - Asian Kaftan’ tezisosola myaka era n’omuntu akuze asobola okuzambala n’anyuma, so nga n’omuwala azambala n’alabika bulungi.

Osobola okulwambala ng’ogenda ku kabaga oba omukolo gwonna, kasita munda oyambaliramu leegingi engeri gye luliko siriiti empanvu okutuukira ddala mu kiwato.

Osobola n’okulwambala ng’ogenda mu ndongo oba mu bifo by’okuliiramu kaasi nga ku bbiici era wano oyinza munda obutayambaliramu leegingi, wabula n’oyambaliramu ‘patra’ oba n’obutagiteekamu. Zigula wakati wa 150,000/- ne 200,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...