TOP

By’olina okukola ekinaabiro kyo obutakumalaako ssanyu mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

EKINAABIRO kye kimu ku bintu ebizze byeyubula okuviira ddala ng’abantu banaabira ebweru w’ennyumba, mu nnyumba munda, nga kati bagula biwedde ate nga bya mulembe.

By 703x422

Okukola ekinaabiro nga kino weetaaga ssente eziwera. Ekinaabiro ekiyonjo nga kino kiwa essanyu.

Ennaku zino bongeddemu n’obuyiiya ng’omuntu bw’ayingira ekinaabiro agenda okufuluma ng’amaze okwekolako n’okwambala engoye z’agenda okufulumiramu. Okumanya ekinaabiro kikulu, kitwala ssente nkumu okuzimba, kisobola okubalwaza nga temukifuddeko awamu n’okumalawo embeera ya twekisize awaka.

Henry Njuki owa Jamaica Hard Ware e Nakasero yategeezezza nti ekinaabiro kizze kyeyubula.

  • Okusooka baabizimbisanga mmuli, essanja n’empaanyi nga wansi basuddemu amayinja.
  • Olumu wabeeranga okooye ng’olina okusitula ebbaafu ejjudde amazzi ng’ogitwala mu kinaabiro. Siryerabira lunaku lwe naseerera ne ngwa ekigwo ne nnuuka omukono.
  • Amazzi ge twamalanga okubugumya ebweru, kati geefumba ne geetabula ng’oli mu kinaabiro. Waliwo n’ebikola masaagi, ebirimu leediyo, essimu ne biteekawo embeera ekuwonya okubonaabona. Mu kinaabiro ky’ebweru onaaba kiro Ronald Keeya ow’e Kasubi alojja ennaku gye yalaba nga bakozesa ekinaabiro ky’ebweru.
  • Kati waliwo ebinaabiro bye bajja mu mawanga nga China ng’okigula kiwedde. Ebitundu ebyenjawulo babipanga bulungi nga totawaanye kutema kisenge nti oteekamu ebikozesebwa.
  • Bazzaako okuzimba eby’obuwangaazi ebya bbulooka nga birina seminti wansi n’ekituli ekifulumya amazzi.
  • Olw’ebizibu abantu bye baafunanga nga banaabidde ebweru, baasalawo okubiyingiza mu nnyumba nga munda bakozesaamu seminti omuka.
  • Olw’okutangira amazzi okuyingira mu bisenge, baatandika okuzimbisa tarazo kwe bazza tayiro eziriko kati.
  • Abalina ku ssente bongedde okwettanira ebinaabiro bino olw’ensonga nti osobola okukikyusa okuva mu kisenge ekimu okudda mu kirala era ng’osobola n’okusenguka nakyo ng’ogenda mu nnyumba endala.
  • Okuggyako abaana abato, abantu abakulu baalinanga kulinda obudde buzibe balyoke banaabe kuba kyali kyesuddeko akabanga.
  • Wanaabanga n’otukula, kyokka nga bw’oba otambula sapatu zisitula enfuufu era w’otuukira mu nnyumba ng’ate oddugadde.
  • Waliwo n’abaana abaatambuzanga ebigere ng’agenda okutuuka mu nnyumba ng’ate kimwetaagisa kuddamu kunaaba buto.
  • Oluusi byaleeteranga n’abantu okwenda anti nga beesisinkana eyo mu kinaabiro engeri gye baanabanga ekiro ng’ate kiri wala nnyo n’enju. Bwe natandika okupangisa, nafubanga okunoonya ennyumba erina ekinaabiro munda.

EKINAABIRO KIRINA KU TEEKEBWA WA MU NNYUMBA

Joseph Ssekamatte omukubi wa pulaani mu Katech Builders yagambye nti ekinaabiro olina okukirowoozaako ng’okyali ku mutendera gw’okukuba pulaani y’enju n’okumanya ebifo we bigenda. Tolina kumala gakiteeka buli wantu kiyinza okubalwaza olw’obutaba kiyonjo n’okubamalako kwekisize awaka.

  • Si kirungi kukiteeka wakati mu nnyumba, kirungi kibeere ku mabbali we kisobola okufunira ekitangaala okuva wabweru awamu ne payipu ezitambuza amazzi obutatambula kiwanvu.
  • Si kirungi muntu kusala kuva mu kisenge kimu kudda walala ng’ava mu kinaabiro. Kibeera kikyamu okugenda mu kinaabiro ng’olina kuyita mu ddiiro awatuula abantu.

ENZIMBA Y’EKINAABIRO

  • Kisaana eddirisa nga ddene erisobola okuyingiza ekitangaala n’empewo okuva wabweru. Bwe kibeera kizimbiddwa wabweru w’enju olina okuteekayo ettaala.
  • Swiiki y’ekinaabiro erina kubeera wabweru okwewala okukwata amazzi ku masannyalaze.
  • Obunene bw’ekinaabiro bulina okusinziira ku bugazi bw’ennyumba n’ebintu by’oyagala okuteekamu. Ekinaabiro omuli kaabuyonjo kirina okuba ekigazi.
  • Ettaala erina kubeera waggulu ku siiringi nga tetuukako mazzi butereevu.
  • Ekinnya omugenda amazzi agava mu kinaabiro kirina okuba kyasimibwa nga kiwanvu ne kiteekebwamu amayinja ng’ate okirongoosa buli luvannyuma lwa bbanga.

EBIKA BY ’EBINAABIRO

  • Waliwo ebibaafu ebiyitibwa bathtabs nga bino bisobola okubeera eby’ebyuma oba ‘fiber’.
  • Eby’ebyuma bagenze babidibya olw’obutawangaala era nga n’omuntu bwakigwako asobola okulumizibwa. Ekibaafu ekitono kigula emitwalo 45 ate ekinene wakati 700,000/- ne 2,000,000/-. Kuno olina okugulirako ebigenderako nga ‘water mixer’, payipu gye bayunga ku kinaabiro n’efulumya amazzi amacaafu. Osobola okugula ‘Shower mixer’ eyiwa amazzi okuva waggulu ng’enkuba.
  • Oyinza okukozesa ‘Shower Cabins’, nga wano ogula akayumba k’ekinaabiro nga kawedde okuzimba n’okatereeza mu nnyumba. Ekinaabiro kibeera kyakolebwa mu ndabirwamu era olw’okutangaala kirina kuteekebwa mu kisenge kya bakulu mwokka. Shower Cabin eno egula wakati wa 1,500,000/- ne 2,000,000/-.
  • Waliwo n’ebinaabiro ebya seminti yekka kyokka bino bigenda bidibizibwa.

EBITALINA KUBU LA MU KINAABIRO

  • Ssekamatte agamba nti ekinaabiro ky’omu nnyumba kyandibaddemu ne kaabuyonjo. Mu mbeera z’obuntu mu kunaaba watera okubeerawo okufuuyisa. Okwewala okukyafuwaza ekinaabiro n’okuwunya, wandibadde ofuka muno.
  • Mu kinaabiro eky’omulembe olina okuteekamu akuuma akagendamu obusenya (toothbrush Holders). Kagula wakati wa 80,000/- ne 100,000/-.
  • Mulina okubeeramu ekintu (Dispensers) mw’oteeka kasasiro atalina kusuulibwa mu kaabuyonjo.
  • Bath tap, teyandibuze mu kinaabiro. Eno ebeera taapu we munaabira engalo n’okusenyeza amanyo. Kuno kwe bateera endabirwamu gye weerabisa nga weezigula. Endabirwamu zigula wakati wa 40,000/- ne 150,000/-.

EKIBA LO KY ’EKINAABIRO

Ekibaafu kya fiber ekinene kya mitwalo 80. Ogulirako ne ‘shower mixer’ ya 250,000/- ne payipu efulumya amazzi ya 200,000/-.

Bino okubigula olina okuba nga wasika dda amazzi era ng’olina okukozesa omuntu alina obukugu okubisibayo obulungi. Ku bukadde bubiri osobola okufuna ekinaabiro eky’omulembe mu nnyumba.

ENGERI Y’OKU LONGOOSA EKINAABIRO

Prossy Nakyeyune Zziwa, akolera mu God’s Grace Hardware e Nakasero agamba nti alina ekinaabiro ky’ekibaafu asobola okukozesa ssabbuuni ow’amazzi oba ow’obuwunga ne sitiiru waya oba ebikuuta n’okikuuta bulungi. Otandikira mu sinki, ebisenge, wansi ne mu kinnya kya kaabuyonjo.

  • Sabbuuni atta obuwuka obw’ebika eby’enjawulo nga Jireh, Vim, Harpic ne Jik olina okuba naye.
  • Olina n’okuba ne kalifuuwa oba ebiweke by’osuulamu ekinaabiro obutawunya.
  • Ekinaabiro olina okukikuuta buli lunaku n’okisiimula ne kikala kubanga kisobola okukulwaza olw’obucaafu.
  • Ku mulyango olina okuteekawo ekisiimuula ekikaza amazzi agaba gasamusse kubanga oyinza okugalinnyamu nga totegedde n’oseerera n’ogwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Check1 220x290

Ab'e Hoima beemulugunyizza ku nduugo...

GAVUMENTI etandise okutumbula obulimi bw’emmwaanyi mu disitulikiti y’e Kisoro ng’erimu ku makubo g’okutumbula...

Dppyu9fx4aaygnu 220x290

Museveni ayozazyozezza Cranes okuwangula...

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza Cranes olw’okuwangulira Lesotho ku bugenyi ku ggoolo 2- 0 n’agamba nti alina...

Luba 220x290

Amataba gasse mwenda mu Arua n'e...

ABANTU musanvu bafiridde mugga Enyau ogusangibwa okumpi ne Arua mu West Nile oluvannyuma lw’okwanjaala ne gubatwala...

Wana 220x290

Kadaga agumizza Bannayuganda abali...

SIPIIKA Rebecca Kadaga asisinkanye Bannayuganda ababeera e Switzerland n’abasomooza okuweereza ezimu ku ssente...

Daki 220x290

Nnansi w'olubuto gwe baapacca oluyi...

DOKITA omusajja agambibwa okukuba omukazi omuzaalisa eyali olubuto oluyi ng’amulanga kulagajjalira omulwadde...