TOP

Nneeliira emmere yange naye nkuumye ffiga

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

AHUMUZA Mable y’omu ku bawala abafa ennyo ku ndabika yaabwe era afaayo ku kika ky’engoye ky’ayambala. Yayogedde ne SHAKIRA NAKATO n’amunnyonnyola bwati;

Wange1 703x422

ENGOYE Kaftan (Ekyambalo ekyefaananyirizaako eky’Abasiraamu) kya njawulo mu ngoye ze nnyambala kuba esobolera ddala okunkolera mu biseera we mpulirira nga saayagala kwambala lugoye lwonna lunkwata ku mubiri kyokka ne nsigala nga nyumye.

Ate njagala nnyo engoye ezinkwata omubiri kuba ziggyayo bulungi ffi ga yange nga mu ngoye zino mwe muli; ebiteeteeyi, jjiini z’empale ne sikaati.

Sirina wantu watuufu we ngula ngoye zange wabula we ndusanga nga nnina ssente nga ngula.

Ngula mu mpya ne mu nkadde kyokka mba mwegendereza obutagula lugoye lungi ku katale naddala mu mpya. Bw’emba nduguze waakiri nfunako kye ndukyusa okwawukana ku balala abazirina.

Ngula engoye kuviira ddala ku 10,000/- n’okudda waggulu.

ENVIIRI

Nze ndi muntu wa buviiri. Nsiba obuviiri obw’enjawulo okusinziira nga bwe njagadde wabula emisono gy’enviiri egimu naddala ogwa “pencil” nagyesonyiwa n’ebiswayiri kuba nina ekyenyi ekiwanvu ennyo.

Kati awo kiba kizibu okulabika obulungi wabula bwo obuviiri bundabisa bulungi era ekika kya “invisible” nkyagala nnyo. Ntera kukyusa enviiri oluvannyuma lw’omwezi gumu.

ENSAWO

Ntera kukwata nsawo ntonontono kuba sitambula na bintu bingi. Kasita nkwata akatambaala n’ebyokwekolako ebitonotono wamu n’essimu yange awo nga ηηenda. Siri muntu wa nsawo nnene kuba sirina byanteekamu bingi. Ntera kugula kuva ku 20,000/- okutuuka ku 100,000/- okusinziira ku kifo n’enkula yaayo.

ENGATTO

Ntera kwambala mpanvu ne fulaati. Bwe nnyambala olugoye olunkwata nnyambala ngatto mpanvu kyokka bwe mba mu lugoye nga luwanvu awo fulaati ze zikolawo kuba olumu mba njagala kubeera mu mirembe gyange ng’okwambala engatto empanvu ziba zijja kummalako emirembe. Engatto empanvu ezo ntera kuzettanira nga hhenda kukola mpozzi ne ku mikolo.

FFIGA

Ng’era omuwala yenna nange njagala nnyo okulabika obulungi ky’ova olaba nga nfaayo nnyo ku ffi ga yange.

Nze njagala nnyo okulya era apetayiti nnina nnene wabula nfuna ekitundu ky’amazzi agookya ne nteekamu ennimu kuba binnyamba okusala amasavu ge mba ndidde emisana wonna.

ENJALA

Enjala sitera kuzisiiga ntera kuzireka nga bwe zibeera kuba zingayaaza. Bwe mba nzisiize ntera kubiggyako mu wiiki bbiri ate awo kintwalira obudde okuddamu okuteekako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...