TOP

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2018

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire

Hob1 703x422

Bya Joseph Zziwa 
 
SC Villa Jogoo 0:2 Masavu FC
 
URA FC 0:0 KCCA FC
 
Soana  SA 2:0 Express FC
 
Kirinnya Jinja SS FC 2:3 Onduparaka FC
 
Maroons FC 0:3 Police FC
 
BUL FC 2:1 UPDF FC
 
Mbarara City 1:3 Vipers SC
 
ABAWAGIZI ba Villa ey’abato baavudde ku kisaawe eggulo nga beevuma omutendesi Phillip Ssozi gwe baagambye nti alemeddwa okulinnyisa omutindo gwa ttiimu nga kati asanga y’akuba era bano baagiyise na kimpe nkyekubire.
 
Kino kyaddiridde Villa okuwuttulwa Masavu goolo 2:0 ezateebeddwa Umar Ssebuliba ne Ismail Makanga mu mupiira ogwazannyiddwa eggulo ku kisaawe kya Villa Park mu liigi y’abatasussa myaka 18 eya Fufa Junior League.

Wabula ye Ssozi yategeezezza nti abatendesi abasinga bafa ku kuwangula yensonga lwaki bazannyisa n’abazannyi abasukka emyaka ekintu ekyonoonye liigi kuba ye nga omuntu azannyisa baana bato era ye  yasalawo yeyambise liigi eno okuzimba abazanyi abanaayamba  Villa ne Uganda mu dda.

Ku ttiimu omunaana eziri mu kibinja kya Hat Trick ,Villa eri mu kyamusanvu n’obubonero 12 mu mipiira 14 nga Vipers yekulembedde ekibinja n’obubonero 39 mu mipiira 14

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Ssemogerere ayingidde mu nkaayana...

EBIKONGE bya DP ebikulembeddwa eyali Pulezidenti, Dr. Paul Kawanga Semogerere ne bannaddiini abakulu mu ggwanga...

Unity 220x290

Bakutte agambibwa okukuba Imaam...

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukuba Imaam w’e Iwemba, Bugiri Sheikh Masuudi Mutumba amasasi agaamusse n’atwala...

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...