TOP

By’otunuulira ng’ozimba enju eneekuwa emirembe mu bukadde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2018

OZIMBA nnyumba yo gy’osuubira okubeeramu ekiseera ekiwanvu oba oddaabiriza nkadde? Wali okyebuuzizzaako oba nga ddala ennyumba eno onoosobola okugyeyagaliramu mu biseera by’obukadde?

Wanga 703x422

Ennyumba ya kalina ng’eno bw’okaddiwa eyinza okufuna obuzibu okulinnya amadaala.

OZIMBA nnyumba yo gy’osuubira okubeeramu ekiseera ekiwanvu oba oddaabiriza nkadde? Wali okyebuuzizzaako oba nga ddala ennyumba eno onoosobola okugyeyagaliramu mu biseera by’obukadde?

Olina okukimanya nti buli olukya weeyongera kukula ng’olina okuteekawo embeera eneekusobozesa okukwanguyiza obulamu ng’okaddiye.

Bashir Ssebunya omukubi wa pulaani owa Ozone Group yagambye nti ekika ky’ennyumba kikulu okukirowoozaako kuba waliwo ekiseera ekituuka nga tokyalina bantu waka, okaddiye, ofunye obulemu ku mubiri n’ebirala.

Agamba nti tewali nsonga lwaki ozimba ennyumba ey’ebisenge ebitaano nga wazaala abaana basatu.

  • Ennyumba ya maka yandibadde yeeyagaza abaana nga bakyali bato ne bwe baba bakulu. Okugeza bwe libeera eddiiro walibadde okirowozaako okuteekamu ebintu ebigasa mwenna.
  • Ettaala z’amasannyalaze kirungi okuteekebwa mu buli kifo ekirimu enzikiza. Si nsonga mu kiseera kino oyinza okuba ng’amataala amangi togeetaaga, kyokka tekikugaana kuteekayo waya n’ebikola byonna n’olinda kimu kya kussaamu ttaala ng’ekiseera ekyo kituuse. Enzikiza eziyiza omukadde okutambula obulungi.
  • Ebinyolo by’oku nzigi kirungi okugula ebiggulwa amangu ebiteetaaga maanyi mangi. 
  • Okuggyako ekifo nga kye kikutemaye ebifo nga eddiiro byandibadde bigazi okukusobozesa okutambuliramu nga tolina kikukoona. Tomanya ekiseera kiyinza okutuuka ng’otambulira ku miggo oba ku kagaali akeetaaga ekifo ekigazi.
  • Ennyumba bw’eba ya kalina kyandibadde kirungi ekisenge ky’abakulu okukiteeka wansi w’osobola okutuuka amangu n’olema kutawaana n’amadaala ng’okaddiye. Bw’oba tokoze ekyo olina okuteekawo ekifo wansi ky’olifuula ekisenge ky’abakulu.
  • Emiti olina okugifaako nga weegendereza ebika by’osimba. Ssimba egyo gye weetaaga kubanga giyinza okukula ennyo ne kisaakaatira awaka n’okukunkumula ebisaaniiko nga tosobola kubirongoosa awaka ne wafuuka ekitagasa.
  • Olw’okuba gy’okoma okukula n’okunafuwa, kirungi okufaayo okukozesa ebintu by’obuwangaazi n’ebyo by’osobola okulabirira n’okulongoosa ng’amaanyi gakendedde.
  • Ennyumba zitera okukaluubiriza okulongoosa okugikuumira ku mulembe naddala nga tolina bakozi ne ssente. Bw’oba olina oluggya lunene kyandibadde kirungi ekitundu ekisinga obunene n’okiyiwa enkokoto oba okusiba pevaazi okusinga okusimba omuddo ogwetaagisa okusaawa n’okulima buli kadde.
  • Daniel Ssebuguzi owa Kakitech Builders agamba nti amayumba mangi bw’oba olinnya okuva mu kisenge ekimu okudda mu kirala teweenkana nga kikwetaagisa okulinnya wansi oba okwambukamu (steps). Ennyumba bw’eba eri mu mbeera eno, wandibadde okola amadaala amatonotono g’osobola okuyitako n’otafuna buzibu.
  • Wadde nga mu kiseera kino oyinza okuba nga tolina baana bakulu nga mukozesa ekinaabiro kimu, olina okulowooza okuzimba ekinaabiro ky’abakulu nga kyeyawudde. Jjukira nti bw’okula otwala obudde bungi ng’onaaba, olina okuteekamu tayiro ezitaseerera kugwa ng’onaaba, oluggi lulina kudda bweru ng’oggulawo nga ne bw’oba ofunye obuzibu oyanguyirwa okuyambibwa abantu. Ekinaabiro kirungi kibeereko ebyuma ku mabbali bye weekwatakao ng’otambula era nga bino bisobola n’okukutaasa ng’obadde oseeredde.
  • Enzigi n’enkuubo nabyo kirungi okubikola nga bigazi okukusobozesa okutambula nga weetadde era nga musobola n’okuyising’anya bulungi. Buli lw’obeera olowooza ku ky’obukadde weeteeke ku mbeera z’omuntu alina obulemu ku mubiri.
  • Bw’oba owayalinga amasannyalaze wandibadde ofaayo okuteeka swiiki eziwera ez’oku bisenge mu bifo eby’enjawulo. Kino kikuwonya okusituka buli kiseera ng’obadde olina ebyamasannyalaze by’oteekako.
  • Buli kisenge ku nnyumba kyandibaddeko eddirisa eriyingiza ekitangaala. Olw’okuba omuntu gy’akoma okukula n’amaaso okukendeera okulaba, kirungi okuba nga buli kisenge kituukamu ekitangaala ky’omusana.
  • Ekiyungu kirungi ne kibeera nga si kiwanvu nnyo. Osobola okufunza ebintu byonna eby’omugaso w’ofumbira, w’oyereza ebintu awamu ne w’obitereka nga biri mu kifo kimu ate ne ssinki zirina okuba nga nnyimbi nga ne bw’oba otudde ng’otuukayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...