TOP

Nsaasaanya 15,000/- ku nviiri buli wiiki bbiri

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2018

GRACE Nakanwagi, nga y’atuukirwako abagenyi mu kitongole kya World Ventures, ate nga mwolesi wa misono yagambye nti omusono gw’enviiri ennyimpi gwamukwata omubabiro era ye eby’okusiba enviiri kati bimuwunyira zziizi.

Wada1 703x422

Grace Nakanwagi ng’alaga ebimunyumira

Agamba nti ng’oggyeeko omusono guno okumunyumira n’okumuzza obuto, gumwanguyira ate nga ne ssente asaasaanya ntono ddala.

Yayogedde me LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola ebintu eby’enjawulo by’akola okwekuumira ku mulembe.

ENVIIRI

Ebyokusiba enviiri kati bigenda bidiba era omuwala atambula n’omulembe nga nze kizibu okumusanga n’omugugu gw’enviiri ku mutwe.

Njagala nnyo okubeera ow’enjawulo era nasalawo okusala omusono gw’enviiri ogwa Under Cut. Zino nzisalira mu saluuni emu ey’omulembe e Bugoloobi.

Buli luvannyuma lwa wiiki bbiri mpitirayo ne bongera okuziyooyoota era nga nsasula 15,000/-.

Bwe bamala okuzisala nsiigamu ebizigo bya ‘Movit’ ebikola obuyengo obutonotono era buli kiseera ziba zinyirira ate siziganya kumyukirira.

Abantu abamu balemererwa okukuuma enviiri ennyimpi so nga bandikyagadde, olw’okuba olina okugenda mu saluuni buli kiseera okuzikomola, kubanga bwe zikula ate zirabika bulala.

Ekirala, ebiseera ebisinga bw’obeera n’enviiri ennyimpi, oteekeddwa okwamba ennyo ate ebikunyumira, ssaako okwesiiga mekaapu akunyumira, okwewala abakulaba okukulowooleza okuba omwana w’essomero.

Omusono guno okugukuuma nga gunyirira, oteekwa okusiigamu ebizigo buli lunaku, ate oluusi kiyinza n’okukwetaagisa okwongera okusiigamu wakati mu lunaku.

 race akanwagi ngalaga ebimunyumira Grace Nakanwagi ng’alaga ebimunyumira

 

Oteekeddwa okutambula n’akasanirizo okuziyisaamu buli kiseera kubanga oluusi zitinkuuka mangu. Ebirala ebikuumira Nakanwagi ku mulembe;

ENGOYE

Olwokuba sirina nviiri, nfuba okwambala engoye eziggyayo ffi ga yange era nonda langi ezinaaleetera abandaba okuntunuulira nga tebanzigyako maaso. Ntera okwambala sikaati empanvu n’oluusi ennyimpi okwo ne nteekako bbulawuzi egenderako. Oluusi nnyambala ebiteeteeyi kuba byongera okundabisa nga ndi muntu mukulu era owobuvunaanyizibwa. Engoye ntera kuzigula wakati wa 35,000/- ne 50,000/- nga nzigula ku Sun Set Arcade mu Kampala.

FFIGA

Olwokuba ndabika ng’omuwala omuto, nfuba okulaba nti ffi ga yange tempaaluukako nga ndya kitono, nga nettanira ebyo ebitagezza. Ekirala nnyumira nnyo amazina era ne bwe sikola duyiro mulala, buli lwe ηηenda mu mazina mmanya nti waakiri omubiri ngukozesezza ekimala.

OLUSUSU

Luno ndutwala nga kikulu era buli wiikendi ηηenda mu bakugu ne balukolako. Ndusiiga akazigo ke bayita Natural Virgin Cream nga nkagula 25,000/-.

Ekirungi tekeerusa ate nga kalongoosa olususu.

ENGATO

Nettanira engatto z’akakondo era nina eziwera, ate buli lwe nzambala zindabisa nga ddala ndi mukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.