TOP

Langi enzirugavu gigatte n’eyaka

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2018

LANGI enzirugavu ya nkizo kuba tetera kuboola bifo ate ng’enyumira abasinga obungi.

Mali 703x422

Ekirala nnyangu ya kutobeka n’ebintu ebirala, olwo agyambadde n’alabika nga wa njawulo.

Wabula waliwo n’abantu abaakikwata nti abantu bambala ebiddugavu mu kukungubaga n’okuzika, ekitali kituufu.

Derrick Lukoye owa Kutos Fashion mu Kampala yagambye nti langi enzirugavu enyuma kuba teboola.

Yagambye nti wabula enyumira nnyo omuntu omweru kuba esika langi ye bulungi n’evaayo ate nga n’olususu lwe lusika bulungi langi y’olugoye ate nalwo ne luvaayo.

Engeri langi eno gy’esika omusana, si kirungi kugyambala mu budde bw’omusana oba mu bbugumu. Lunyuma ku mpewo n’akawungeezi.

Engeri engoye enzirugavu gye zibeera zizikira, omuntu ayambaliddeko engatto mu langi eyaka, oba waakiri n’akwatirako akasawo aka langi eyaka nga emmyuufu, kyenvu oba endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe...

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma...

Zina 220x290

Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya...

Rev. Dr. Keefa Ssempangi eyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ng’ayambibwako abamu ku baana be yayamba, ali mu nteekateeka...

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...