TOP

Abagagga basindanye mu ssente ku mukolo gw'okwanjula muwala w'omugagga Butebi

By Kizito Musoke

Added 2nd April 2018

MAAMA Fiina yalaajanye bamuleetere ensawo ye, oluvannyuma lwa ssente okumuggwaako bwe yabadde asindana n’omugagga w’e Mityana, Emmanuel Ssembuusi Butebi mu kugabira omugole ssente.

Suula1 703x422

Maama Fiina yatunudde n’asoberwa ng’omugagga Butebi asuula doola ate nga ye agaba bwa 20,000/-. Ku kkono ye mugole Resty Nakanaabi gwe baabadde basuulira ssente. Mu katono ze ssente omugole ze baamuwadde.

Baabadde ku mukolo gw’okwanjula kwa Resty Nakanaabi muwala w’omugagga Butebi era mwannnyina w’omubaka wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake.

Omukolo gwabadde ku kyalo Buswabulongo e Mityana ku Lwomukaaga nga March 24, 2018.

Maama Fiina eyabadde agaba obupapula bw’e 20,000/- yasoose kusindana ne Zaake eyabadde agaba 50,000/-.

Oluvannyuma Butebi yayingiddewo ng’asuula doola, era Maama Fiina yatuuse ekiseera n’asiriikirira ng’alaba asobeddwa.

 erald ngamema ne esty Gerald ng’amema ne Resty.

Ssente ze yabadde agaba zaamuweddeko olwo n’alaajana ng’ayita muwala we, Fiina eyabadde n’ensawo omuli ssente okugyanguya. Oluvannyuma yazzeemu okumansa ssente era yategeezezza nti omugole yamuwadde obukadde 10.

Ate Gen. Katumba Wamala yakubizza abantu enduulu bwe yatudde ne Zaake agambibwa okuba nga yamukuba ekikonde mu lutalo lwa Togikwatako.

Maama Fiina yasesesezza abantu bwe yamwebazizza okumukuba eηηumi, kyokka n’amusiima obutamukuba nnyo kumutta.

 en atumba amala ku kkono rancis aake ne arold aija amyuka saabawandiisi wa Gen. Katumba Wamala (ku kkono), Francis Zaake ne Harold Kaija amyuka Ssaabawandiisi wa FDC.

Omukolo gwetabyeko bannabyabufuzi okwabadde; Loodi Meeya Erias Lukwago, Kato Lubwama (Lubaga South), Mubarak Munyagwa (Kawempe South), John Baptist Nambeshe (Manjiya), Muwanga Kivumbi (Butambala), Babirye Kabanda (mukazi/Masaka), David Lukyamuzi Kalwanga (Busujju).

Aba Buganda baakulembeddwaamu; Namasole Siwoza Nagawa, Ssabalangira Godfrey Musanje, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Joseph Kawuki (minisita omubeezi owa Gavumenti z’ebitundu eyakiikiridde Katikkiro wa Buganda) awamu n’abasuubuzi aba maanyi mu ggwanga.

Abayimbi abaasanyusizza abantu kwabaddeko ; David Lutalo, Stecia Mayanja, Catherine Kusaasira, Haruna Mubiru, Stabua Natoolo, Charles Sekyewa, Rema Namakula n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...