TOP

Ebiyamba omuwala azaddeko okusigala ng’alabika bulungi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2018

Ebiyamba omuwala azaddeko okusigala ng’alabika bulungi

Lil1 703x422

Nannyonga Lillian

ABAWALA abamu bw’amala okuzaala eby’okwefaako ng’abiviirako ddala. Osanga omuwala ow’emyaka 20 ng’alina omwana omu wabula ng’afaanana ow’emyaka 40.

Lillian Nanyonga 30, ow’e Nansana alina abaana babiri wabula bw’omulaba oyinza okulowooza nti muwala muto eyaakava mu ssomero. Yannyonnyodde LAWRENCE MUKASA engeri gye yeerabiriramu n’asala emyaka.

ENGOYE Olw’okuba saagala kulabika ng’omukadde, neewala okwambala engoye ezitankwata mubiri. Nettanira obuteeteeyi, ‘jump suit’ ne sikaati ezinkwata omubiri.

Bino sibigula bbeeyi nnene kuba mmanyi kye njagala ate mmanyi ne we nsobola okukifuna ku bbeeyi ensaamusaamu. Bwe ηηenda mu Owino gye nsuubula engatto ze ntunda, nfuna obudde okukebera ku ngoye eziri ku mulembe era eno gye nsinga okuzigula.

Engoye ntera kuzigula wakati wa 20,000/-ne 30,000/-, wabula bwe nzambala andaba ayinza okulowooza nti za bbeeyi nnene.

ENVIIRI Waliwo obuviiri obusala emyaka, era buno bwe ntera okusiba. Muno mulimu wiivu za ‘human’ naddala ekika kya Noble. Zino zimmalako wakati wa 20,000/- ne 50,000/- okusinziira ku kifo we nzisibidde.

 

FFIGA

Abawala abasinga bwe bafuna embuto eby’okulabirira ffiga zaabwe nga babisuula muguluka ne weesanga ng’eyandisigadde ne kaffi ga ke teyeefi irayo olw’okuba ayonsa so nga n’omusajja obeera omulabikira bubi.

Nze bwe namala okuzaala nafuba nnyo okulaba nti ekimu ku by’okulwanyisa byange nkiddaabiriza era wano natandika okukolanga dduyiro buli ku makya n’olweggulo, ebisiike ne mbyesonyiwa kuba bireeta omugejjo ate ne nettanira okulya ebibala buli lunaku.

Ffiga yeetaaga n’ogiriisa emmere ekika kimu nga tokyusakyusa awo emanyiira. Ekibi nti abawala abamu kino tebakifaako.

OLUSUSU

Ekimu ku bintu ebikaddiya abawala ensangi zino z’ensusu okubakaddiwako. Kino kisinga kuva ku kweyerusa nga baagala okufaanana ng’Abazungu. Nze olususu lwange ndusiigako ekigaji buli ku makya n’olweggulo.

Kino kiruyamba obutalumbibwa ndwadde z’olususu. Kuno nnyongerako akazigo ka Johnson Jelly akalugonza ate ne lusigala nga lulabika bulungi.

ENGATTO

Omubiri buli lw’ogubonyaabonya nagwo gwekyanga n’otandika okutambula ng’omulema olw’okuba oyagala okukoppa n’ebyakuyitako. Nze siri muntu wa bukondo buwanvu, nnyambala akakondo akampa emirembe nga ntambula ate nga kannyumira.

EBYOKWEWUNDA Omuwala omulungi teweetaaga kwekolako nnyo ng’ogatta langi ez’enjawulo. Omubiri tegwetaaga kusiba nnyo ne gubulwako obwekyusizo. Nze amatu ngateekako eby’oku matu ebisaamusaamu era ebiseera ebisinga omukuufu gw’omu bulago sigwambala kuba bwe biyitirira otuuka okutambula ng’onyeenya ng’akuba ebide.

EMIMWA

Gino ngisiigako lipusitiiki omusaamusaamu ate ng’agendera ku lugoye lwemba nnyambadde. Abawala abamu balowooza nti okusiiga omumwa ebintu ebingi kwe kunyuma wenna n’otuuka n’okuseka nga tokyasobola olw’okuba otya okusiimuula lipusitiiki. Kirungi n’osiiga omusaamusaamu ate ng’agendera ku langi y’olususu lwo.

ENJALA Zino nzisiigako ka ‘henna’ era ono amalako omwezi mulamba. Wabula kuno oluusi nsiigako cutekisi naddala atalaga langi ekiziyamba okumasamasa. Nnina annyambako okuziyooyoota era nga zimmalako 20,000/ buli mwezi.

ENSAWO

Olwokuba nti omubiri gwange gukuze, saagala nnyo kugwetissa migugu kugukooya era ensawo nzikwata lwe mba nninayo omukolo nga tekyebeereka. Ntera okukwata obusawo bw’ekivubuka ekika kya ‘cross bags’ kuba tebumenya ate nga bwangu okutambuza buli w’olaga. Mbugula wakati wa 25,000/- ne 35,000/- okusinziira ku kifo we mbusanze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...

Newsengalogob 220x290

Njagala ayimba oluyimba lw'eggwanga...

NKOZE ntya mukazi wange asobole okuyimba oluyimba lw’eggwanga ng’aleekaana? LWAKI oyagala aleekaane? Abasajja abamu...