TOP

Okwetungisiza engoye kinfudde wa njawulo mu by'emisono

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2018

PRILLAH Kengazi omutuuze w’e Namugongo y’omu ku bawala abeekuumira ku mulembe. Yagambye nti ayagala nnyo okwambala olugoye nga tewali mulala alwambadde nga kino kye kyamusikiriza okutandika okweyiiyiza emisono gy’ayambala. Yagambye VICKY NABUKEERA engeri gye yeekuumidde ku mulembe.

Yita 703x422

Kengazi mu kiteeteeyi ky’emikolo kye yatungisa n’engatto eziraga ebigere.

ENGOYE

Omanyi bwe kinyiiza okugenda ku mukolo ng’oyambadde olugoye lwo olw’omulembe n’osanga ng’omuntu omulala alwambadde.

Kino kye kimu ekyansikiriza okutandika okweyiiyiza emisono gyange nsobole okwawukanako ku balala.

Wadde siri mutunzi, wa ngoye wabula mmanyi okukuba ebifaananyi kubanga nakolako essomo lya Art mu ssomero era nsobola okwekubira ekifaananyi ky’omusono gw’olugoye lwe njagala ne nkitwalira omutunzi n’antungira olugoye lwe njagala era kino kinsobozesa okwambala engoye ezitasangikasangika.

Bwemba ntungisa olugoye nsinziira ku misono egiri ku mulembe okugeza nga bbulawuzi eziraga ebibegabega ne sikaati ezisibira mu lubuto. Ntungisa mu langi ez’enjawulo okusinziira ku zinnyumira.

Njagala nnyo okwambala langi ezaaka okugeza nga golodi n’enjeru kubanga zindabisa bulungi ddala.

Nyambala engoye ez’enjawulo ng’ebiteeteeyi, sikaati ne bbulawuzi wabula nga mu biseera byange eby’eddembe nnyambala empale ne bbulawuzi naddala nga ηηendako awutu.

Engoye ze ntungisa zimmalako wakati wa 100,000/- ne 150,000/- okusinziira ku kika ky’omusono.

Wabula wadde engoye ezimu ze nnyambala nzitungisa, naye waliwo ze ngula mu maduuka nga zisuubuddwa okuva ebweru.

OLUSUSU

Nkozesa nnyo ebintu bya kkampuni ya Dove okuviira ddala ku ssabbuuni, ebizigo ne woyiro.

Bino nkakasa bye binnyambye okukuuma olususu lwange nga luweweevu ate nga lunyirira. Neewala okutabikatabika ebizigo kubanga oluusi kivaako embalabe n’okwonoona olususu.

Ekirala nnywa amazzi buli ku makya era nago gannyambye okukuuma olususu lwange nga lwaka. Ebizigo bya Dove ne ssabbuuni mbigula 50,000/- byonna awamu.

ENGATTO

Nsinga kwettanira ngatto empanvu ezitangaala era zino ze ziriko. Engatto zino zikolebwa nga zitangaala era omuntu bw’azambala olaba bulungi ebigere bye.

Zino zirimu ebika nga eza bbuutu nga ziba zikoma mu ntumbwe n’ezakakondo. Olussi zikolebwa ng’oludda olumu lwa ddiba ate olulala lwa pulasitiika atangaala.

Engatto zino zaasooka kwambalwa bayimbi nga Rema Namakula, Sheebah Karungi, Irene Ntale wabula kati nafe abawala abatambula n’omulembe tuzettanidde. Kye nsinga okuzaagalako kwe kuba nti zirabisa bulungi ebigere ate nga kizibu okukwokya.

Engatto zino n’endala nzigula mu Kampala naddala ku kizimbe kya Sky Light nga zitundibwa wakati wa 50,000/- ne 100,000/-.

ENVIIRI

Nze ndi muntu wa nviiri nnyimpi kubanga nnyangu okukuuma ate nga nsobola okwambala buli kika kya wiigi gye njagala.

Nfuba okulaba ng’enviiri zange zirabika bulungi. Zino nziteekamu obuyengo obutono nga nkozesa ‘parm rodes’ ekiziyamba okulabika obulungi.

Oluusi nteekamu ttinti omutonotono agendera ku langi y’olususu lwange era ne ndabika bulungi.

Enviiri zange nzinaabamu buli luvannyuma lwa wiiki emu nga nkozesa ‘shampoo ne ‘Conditioner’., olwo ne nsiigamu ebizigo bya ‘Magic rolers’ ebikola obuyengo obwo obutono.

ENJALA

Zino nzisiigako cutekisi buli Lwakutaano nga ηηenda mu wiikendi, kyokka bwemba n’omukolo gwe ηηendako mu wiikendi nteekako enjala eza ‘artfi cial’ ne nsiigako ne cutekisi. Wabula ensangi zino nettanira nnyo langi za cutekisi ayaka.

Ng’oggyeeko okusiigako cutekisi, enjala nzikolako tulitimenti aziyamba obutakutuka. Kuno ngattako n’okukuuta ebigere okwewala okuggyako encaaca. Bino byonna bimmalako 50,000/-.

FFIGA

Okufaananako n’abawala abalala, nange njagala nnyo okulabika obulungi era nfaayo ku ffi ga yange. Kye nsinga okussaako essira y’emmere gyendya.

Wadde nga mpoomerwa nnyo enkoko, nfuba okulaba nga nkendeeza ku kipimo kyendya kubanga oluusi ebaamu amasavu agayinza okundeetera omugejjo.

Nettanira okulya enva endiirwa nga nakati ne katunkuma nga bino byongera ekiriisa mu mubiiri gwange ate nga tebingezezza.

Ekirala nnywa kacaayi ka ddaawa nga kano kabaamu enniimu, entangawuzi, n’omubisi gw’enjuki nga bino byonna biyamba okusala omubiri ate nga katangira ne sennyiga.

Ng’oggyeeko okulya obulungi nkola ne dduyiro kubanga naye annyambako okukuuma ffi ga yange ng’erabika bulungi ekinnyamba okwambala engoye ne nnyuma.

EBYOKWEWUNDA

Njagala nnyo okwambala eby’omu bulago okusiinzira ku langi n’ekika ky’olugoye lwemba nnyambadde.

Nettanira emikuufu egiyiikayiika kubanga zinnyumira nnyo ate ne zikweka amagumba g’omu bulago. Emikufu ngigula wakati wa 30,000/- ne 50,000/- , okusinziira ku kika kye mba nguze n’ekifo we nguze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wana 220x290

Kadaga agumizza Bannayuganda abali...

SIPIIKA Rebecca Kadaga asisinkanye Bannayuganda ababeera e Switzerland n’abasomooza okuweereza ezimu ku ssente...

Daki 220x290

Nnansi w'olubuto gwe baapacca oluyi...

DOKITA omusajja agambibwa okukuba omukazi omuzaalisa eyali olubuto oluyi ng’amulanga kulagajjalira omulwadde...

Mbu 220x290

Tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi...

Abayimbi abagenda okuyimba mu kivvulu kya Bukedde FaMa Embuutu y’Embuutikizi kalakata bakoowodde abaddigize okujja...

Yamba 220x290

Anannyamba okukulaakulanya ekitone...

Kati oyagala mukazi atya? Eyeetegese okukola obufumbo, ow’obuvunaanyizibwa, alina ne ku ssente anaasobola okunyambako...

Gala 220x290

Nnoonya omusajja atazaalangako...

Oyagala mwami alina bisaanyizo ki? Njagala omwami atazaalangako, alina eddiini, omwetegefu okugenda mu bakadde...