TOP

Abawala bettanidde okwambala ‘mwana akula’

By Musa Ssemwanga

Added 1st July 2018

BW’OGENDA mu bifo ebisanyukirwamu ensangi zino ojja kwesanga ng’abawala bangi abambadde engoye ze wandiyise ‘mwana akula’.

Vunu 703x422

Abawala mu misono egy’enjawulo.

Zino okusinga ziba ssaati ng’ez’abasajja, jaketi n’essweeta naye nga binene ddala okusinziira ku sayizi zaabwe.

Era abamu bayinza okukufaananira abateefaako mu by’okwambala, so ng’ate kati gwe gufuuse omusono.

Abawala abamu bambala ssaati oba jaketi za baganzi baabwe nga nnene.

Abamanyi eby’emisono baagambye nti ennyambala eno yaliwo mu 1990 era wano ng’oggyeeko essweeta ne jaketi, baayambalanga ne jjiini nga nnene olwo ne basibako omusipi ne bbulawuzi za ‘kkundi sho’.

Dustan Abeho owa Yuppy’s Clothing mu Kampala yagambye nti ennyambala eno omulwanirizi w’eddembe ly’abakyala amanyiddwa nga Amelia Bloomer,ye yatandika ennyambala eno mu 1990.

Kuno yagattako okulaga abakazi nti okwambala engoye ng’ezabasajja tekiriimu sitaani, kwe kutungisa empale ekika kya ‘bloomer’ era wano we yatandikira okucaaka mu Butuluuki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...

Ssenga1 220x290

Lwaki malamu mangu akagoba?

Ndi musajja wa myaka 40. Nnina ekizibu eky’okumala amangu nga ndi n’omwagalwa wange.