TOP

Ku baana 5 be nzadde nkyayaka

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

EMYAKA kye kimu ku bintu abawala ensangi zino kye bataagala kuwulira era bafuba okulaba nti bakola ebintu bingi ne badda buto. Fifi Gold Namuddu 30, alina abaana bataano wabula akyayaka. Musawo wa nsusu ate nga yakuguka mu kubudaabuda abantu. Yayogedde ne LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola ebimuyambye okusigala ng’alabika bulungi.

Lunga 703x422

Namuddu mu biseera bye ebyeddembe.

OLUSUSU

Omuwala yenna akuze si kirungi kwesiiga bizigo ebikyusa endabika y’olususu lwo kubanga buli lwe weeyongera okukula n’olususu lweyongera okukaddiwa n’okufuna enkanyanya.

Singa weggya ku langi y’olususu lwo ne weeyerusa, kikaddiya olususu. Nze nasalawo okusigala ku langi y’olususu lwange era nkakasa kinnyambye obutakaddiwa. Akazigo ke neesiiga nkeetabulira.

Nsooka ne nfuna omubisi gw’enjuki ne nteekamu ovakkedo ne ngattamu amagi amabisi ne nkamuliramu enniimu ne ngattamu n’ensaano ya budalasiini ne ntabila, olwo ne neesiiga omubiri gwonna.

Bino mbitabula emirundi ebiri buli wiiki ku makya n’olweggulo era nga bwe mmala okubyesiiga mpisaawo essaawa ssatu olwo ne mbinaabamu nga nkozesa akawero akalimu amazzi agabuguma.

Ebintu bino binnyamba okuzibukula obutuli bw’omubiri bwonna obubeera buzibikide ate n’okulwanyisa ebirwadde byonna ebyandirumbye olususu lwange.

Binnyamba n’okuluweweeza n’okuluwa obulamu. Bw’obikozesa ne bw’otambula mu musana totuuyana. Byonna bye nkozesa bimmalako 5,000/-.

ENGOYE

Wadde nga ndi mukulu naye nagaana okulabika ng’eyava edda ku mulembe. Nayagala nnyo n’okusigala nga ndabikira bulungi omwami wange.

Nettanira nnyo obuteeteeyi naddala obunkwata omubiri kubanga buno tebulaga myaka ate nga buggyayo bulungi ffi ga yange.

Sirina kifo kya nkalakkalira we ngula nga ne bw’aba mutembeeyi ng’alina ekirungi muyimiriza ne ngula. Engoye ntera kuzigula wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okusinziira ku lugoye lwe nsiimye.

ENVIIRI

Saagala nnyo bintu bimmalako mirembe, y’ensonga lwaki ntera kusiba emisono emyangu okuyonja n’okuzirabirira era nga nettanira nnyo ekika kya ‘dreadlocks’ kubanga teziboola nnyo bifo, tezikuuma bbugumu ate nga nnyangu okulabirira.

Zino nzikola oluvannyuma lw’emyezi egitasukka mukaaga nga zimmalako 100,000/-.

FFIGA

Eno nnina okugikuuma okusigala nga nnyumira engoye. Buli ku makya nkeera mu dduyiro ne ntuuyana.

Bwe mmala ne nnywa eggiraasi bbiri ez’amazzi agalimu enniimu. Oluvannyuma mpummulamu ne naabako.

Emisana sirya mmere eteriiko nva ndiirwa, ovakkedo oba ennyaanya embisi kubanga bino biyamba okusala amasavu.

ENGATTO

Nnyambala engatto ezimpa emirembe. Kyenva ntera okwambala eziraga ebigere kubanga nabyo birabika bulungi. Engatto nzigula okuva ku 30,000/-okudda waggulu okusinziira ku kifo we nguze.

EBYOKWEWUNDA

Saagala nnyo kulabika nga gwe batwala ku mudaala okuwasa, era ebya meekaapu nze kasita ku mimwa nsiigako lipusitiiki oba ka ‘lip shiner’ nga kiwedde kuba kayambako obutasiiwuuka mimwa n’okugiyamba obutakala era nkozesa nnyo ekika kya ‘Mac’ nga nkigula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...