TOP

Engeri gy’oyooyoota ebigere byo ng’oli waka

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

ABAKYALA n’abawala ennaku zino tebava mu saluuni okukola ku bigere byabwe era basaasaanya ekiwera okubiyooyoota.

Gettyrmphotoofmanusingpumicestone1 703x422

ABAKYALA n’abawala ennaku zino tebava mu saluuni okukola ku bigere byabwe era basaasaanya ekiwera okubiyooyoota.

Wabula osobola okuyooyoota ebigere byo ng’oli awaka ate nga tosaasaanyizza kinene.

Waliwo ebintu by’osobola okukozesa ng’oyooyoota ebigere okubiwonya okukaluba, okusiiwuuka n’okujjako enkyakya.

 Amajaani, vinegar’ ne ‘baking soda’.

Bino byonna osobola okubifuna mu supamaketi ku bbeeyi ensaamusaamu. Bigatte obiteeke mu mazzi agabuguma, olwo onnyikemu ebigere. Bijja kuyamba okubigonza n’okuggyako olususu olwonoonese.

 Amazzi g’enniimu. Gano osobola okugagattamu amakerenda nga aspirin g’osekudde n’ogasiiga ku bigere, oluvannyuma n’obiteeka mu kaveera okumala eddakiika 10. Bino nabyo biyamba ebigere okugonda.

Omunnyo gw’ekisula. Guno nagwo gukola kinene mu kugonza ebigere n’okumalako enkyakya. Kiteeke mu mazzi agabuguma, oluvannyuma onnyikemu ebigere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai