TOP

By’olina okwetegereza ng’oteeka amasannyalaze mu nju

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

AMASANNYALAZE gaamugaso nnyo eri obulamu bw’omuntu kyokka bw’okola ensobi mu kugakozesa oba nga bagateeka mu kizimbe osobola okufiirwa ebintu n’obulamu bw’abantu.

Waganyala 703x422

Ennyumba okuginyiriza okutuuka ku ssa lino olina okuba nga wagiyisaamu dda waya z’amasannyalaze.

Anne Nabigali Kimbugwe 54, omutuuze w’e Kitebi mu Lubaga obulabe obuva ku masannyalaze abunyumya nga lutabaalo oluvannyuma lw’amasannyalaze okumwokera ekizimbe ky’essomero lye yali atandiseewo ekyaliviirako okusaanawo.

Natandika okuzimba ekizimbe ky’essomero mu 1993 e Kitebi ne nkimaliriza mu 2012.

Nakwatagana n’ekitongole kya UMEME e Nalukolongo okulaba ng’amasannyalaze gateekebwa mu kizimbe .

Bambuulira ebyetaagisa byonna ne mbikola ne bansindikira n’omuntu agenda okuganteeramu.

Bwe baatandika okusima ekinnya kya Asingi (earthing) nafunamu okutya bwe yasaba kkiro y’omunnyo emu n’ekitundu okuyiwa mu kinnya kino mu kifo ky’olusennyente lw’amanda.

Mu August 2012 nga wayise omwezi gumu, UMEME yasindika abasajja ne bateeka amasannyalaze mu kizimbe, kyokka bwe nagezaako okuteekako amataala, firiigi, ttivvi n’ebyuma ebirala nga byonna bikuba. Nabategeeza ne bajja ne bagezaako okubitereeza.

Nga February 6, 2013, ekizimbe kyakwata omuliro ogwatandikira mu mmita bbokisi ey’omunda. Natuukirira maneja w’ettabi ly’e Nalukolongo eyagezaako okunzizika n’okumbuzaabuza nga bw’angamba nti nze nnayokezza ekizimbe kyokka nga n’awaka saaliwo.

Okuva mu 2013 okutuusa leero nzuuzumba n’omusango guno oluvannyuma lw’okwekubira enduulu mu kkooti y’ensonga z’amasannyalaze (Electricity Distribution Tribunal) nga kati guli mu kkooti enkulu etuula ku Twed Tower ku Fayiro nnamba LAP/KLA/134/18.

Njagala bandiyirire ssente zange zonna ze nakozesa mu kuzimba ekizimbe kyange ate n’obudde bwe mmaze nga nneewuuba olw’ensonga eno ekindeetedde n’ebirwadde nga Puleesa, entunnunsi n’okwavuwala.

ANI AKKIRIZIBWA OKUSSA WAYA MU KIZIMBE

Robert Ssewava akolera mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze mu Uganda agamba nti abantu bangi abeerimbika mu linnya lya UMEME ne bakolera abantu gadibe ngalye.

  • Aba kiraasi Z be bavunaanyizibwa okuteeka amasannyalaze mu bizimbe by’amakolero amanene nga aga sukaali, sooda n’omwenge.
  • Alina Kiraasi B, avunaanyizibwa ku kukussa waya mu nnyumba ezaabulijjo entonotono, n’okubunyisa amasannyalaze okuva ku layini emu okudda ku ndala era obuzito bw’amasannyalaze g’akolako bubeera wakati wa 11KV- 32KV.
  • Owa Kiraasi D y’avunaanyizibwa okussa amasannyalaze mu nnyumba etasukka bisenge bitaano ng’amasannyalaze tegasukka buzito bwa volt 240.
  • Agamba nti omuntu akkirizibwa okussa waya mu nnyumba alina okubeera n’obuyigirize okuva mu ttendekero erimanyiddwa era nga yakuguka mu by’amasannyalaze. Alina okuba ng’ebiwandiiko bye byakkirizibwa ekitongole kya ERA ne kimuwa Pamiti eraga kiraasi n’ekika ky’amasannyalaze g’alina okuwayalinga. Kiraasi zibeera ttaano okuli A, B, C, D ne Z era nga buli emu ekola bya njawulo.
  • Kiraasi C y’avunaanyizibwa ku kuteeka amasannyalaze mu bizimbe bya kalina oba ebiwanvu ennyo wabula ng’obuzito bw’amasannyalaze tebusukka volt 415. Era ono avunaanyizibwa n’okussa ebyuma ebinene ng’ebikuba Kasooli, embaawo n’ebigwa mu kkowe eryo.
  • Owa kiraasi A, avunaanyizibwa ku buli kika ky’amasannyalaze naddala ago ageetaaga obuzito obwa waggulu.
  • Ow’amasanyalaze omutuufu talina kusasuza kasitooma bbaluwa esaba amasannyalaze, eno ebeera ya bwereere era ku bbaluwa eno alina okukuteerako dupulikeeti ya Pamiti.

MITENDERA KI EGIYITIBWAMU OKUWAYALINGA ENNYUMBA

Ssewava agamba nti omuntu yenna anaateeka amasannyalaze mu nju alina okumanya ebintu n’ebika ebituufu ebirina okukozesebwa okugeza:

Waya ekola ku mataala erina okubeera n’obunene bwa 1.5mm2, egenda mu soketi ya 2.5mm2, eya Cooker erina kuba 6mm2 n’ebirala bingi.

Switch enkulu (Main Switch) naddala mu kizimbe ekinene erina okubeerako obunene bwa 8 ate waya etambuza amasannyalaze (Load Cable) okuva mu mmita bbokisi okutuusa mu Switch enkulu, ebeera n’obunene bwa 10- 16mm2.

ASINGI (EARTHING)

Osima ekinnya kya buwanvu bwa mmita emu n’ekitundu okukka wansi, oteekayo ekyuma ekiziyiza okwaka omuliro (Copper mat oba Copper electron machine) n’osibako waya erina obunene bwa 10-16mm2 ne yeegatta ku mmitabbokisi eri ku kisenge, mu kinnya oyiwamu omunnyo gw’ekisula oba omunnyo kiro 10 n’olusennyente lw’amanda kiro nga 50.

Oluvannyuma oziika ekinnya kino n’ettaka eriddugavu n’oyiwako amazzi ebidomola nga 10 era bino bwe biggwa ng’osibako olukomera.

ASINGI EYAMBA KI?

Amasannyalaze agava ku kikondo okuyingira mu nnyumba galina okubeera n’obuzito oba obungi bwa Volutegi 240.

Eno eyamba okukkakkanya amaanyi g’amasannyalaze ssinga gajja nga mangi. Era wano omugaso gw’ekyuma kya Copper Mat kye tusibako waya egatta ku mmita bbokisi we gulabikira.

Ssinga omuntu akola ensobi mu asingi n’obutateekayo ebikozesebwa ebimala, kireetera amasannyalaze okwokya enju.

EBIRALA EBIVIIRAKO AMASANNYALAZE OKWOKYA ENJU

  • Abalala baddira Pevaazi oba enkokoto ne babikka awali ekinnya kya asingi ekiziyiza amazzi okuyingira wansi olwo ekyuma ne kibulwa obunnyogovu obumala.
  • Okwefuula makanika oba okukozesa bakamyuufu ne bakozesa waya ezitakwatagana ziyinza okuvaako ekizimbe okukwata omuliro.
  • Ssinga ekinnya we wakolera asingi watwala ebbanga nga tewafuna bunnyogovu bumala naddala mu budde obw’ekyeya kisobola okuviirako enju okukwata omuliro. Kino kitegeeza nti mu budde bw’ekyeya olina okufuna amazzi n’ogayiwa awali ekinnya kino.
  • Ebizimbe by’omu bibuga ebisinga bya mugotteko. Ssinga omu asima ekinnya kya asingi kisobola okucankalanya waya eziri mu kinnya ne gakwata omuliro.
  • Okukozesa ennyingo ennyingi nga bassa amasannyalaze mu nju kya bulabe naddala ng’osibisa soloteepu. Kiba kirungi okukozesa (Joint Boxes).

MMITA BBOKISI ERINA KUBEERA WA?

Erina kubeera ku ludda okuli omuti gw’amasannyalaze, kuba waya eva ku muti erina obuwanvu bwa mmita 35 zokka.

Buli mmita bbokisi bw’ebeera ewala kitegeeza weetaaga ebikondo bibiri. Mmita bbokisi terina kubeera waggulu nnyo ku nnyumba. Erina kubeera mmita 1 n’ekitundu okutuuka ku ttaka awali ekinnya kya asingi.

UMEME EVUNAANYIZIBWA KU KIZIMBE NG’AMASANNYALAZE GAKYOKEZZA?

Omulimu gwa UMEME gwa kulambula ekizimbe nga bamaze okukola wayalingi eteekwa okukolebwa omukugu.

Ekebera ekikuta kya waya ekiweza obunene bwa 1000ohms n’okweyongerayo. Yeetegereza waya eva mmitabbokisi oba terina bumenyefu bwonna wamu n’okugobereza amaaso mu ngeri wayalingi gye yakolebwamu.

Bino byonna nga biwedde, Umeme evunaanyizibwa ku kuyingiza amasannyalaze mu kizimbe. Kino tekitegeeza nti evunaanyizibwa ku kwokebwa kw’ekizimbe kubanga wayalingi yakolebwa muntu mulala.

Noolwekyo olina okunoonya omukugu okukukolera omulimu guno. Ssewava agamba nti ekizimbe bwe kikwata omuliro olw’ensobi okuva ku masannyalaze, yinginiya egateekamu mu kizimbe y’alina okuvunaanwa.

Wabula Ssewava mweraliikirivu olwa UMEME okuggya ku bakasitoma 41,300/- eza yinsipekisoni ne 98,000/- ez’okuyingiza amasannyalaze kyokka bbo abawayalinga ne baviiramu awo ate ng’ekizimbe bwe kikwata omuliro be bavunaanyizibwa.

WAYA ZIYISEEMU NGA TEBANNABA KUKUBA PULASITA

Peter Ssemujju owa SEK Electrical Services yagambye nti kyandibadde kirungi n’owayalinga ennyumba yo nga tonnaba kukuba pulasita kubanga mubeeramu okusima ebisenge mwe bayisa payipu omuteekebwa waya z’amasannyalaze.

Bw’omala okukuba pulasita kitegeeza bajja kusima ekisenge ate baddemu okugitereeza. by ’olina okukozesa Conduits, Double MK, Single MK, Mmita bbokisi, Main Switch, Circular boxes, Adaptable Boxes, Couplars, waya z’amasannyalaze, emisumaali gya katiko n’ebirala okusinziira ku kika ky’ennyumba.

Otegeera otya omuntu omutuufu?

Ssemujju yategeezezza nti omuntu okuba n’ebbaluwa si bwe bumanyi. Agamba nti bw’oba ogenda okuwayalinga ennyumba kyandibadde kirungi ne weebuuza ku bantu ab’enjawulo n’omanya kiki ky’olina okukozesa n’engeri y’okubikozesaamu.

Kati bw’ofuna omuntu n’olaba ng’akola birala olina okwebuuza obutafuna buzibu mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...